Abasiraamu bakubiriziddwa okwettanira okutereka ssente
May 03, 2025
BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okufuba ennyo okulaba nga batereka ku ssente zebakola kino kibayambe okwekulaakulanya n’okugoba obwavu mu maka

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okufuba ennyo okulaba nga batereka ku ssente zebakola kino kibayambe okwekulaakulanya n’okugoba obwavu mu maka
Bino byogeddwa akulira yunivasite ya Islamic University in Uganda Polof. Ismail Simbwa Gyagenda abakozi ku mitendera egy’enjawulo ku yunivasite eno bwebabadde beegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakozi ng’omukolo guno gwabadde Kibuli mu Kampala.
Polof. Gyagenda yagambye nti omuntu yenna bwaba wa kukulaakulana, okutereka ku ssente z’afuna kikulu nga nebwoba otereka shs 10,000 buli mwezi, omwaka gugenda okuggwako ng’olinawo ssente ez’omuzindo z’osobola okukozesa ebintu eby’enjawulo.
Kyokka ono yasiimye Gavumenti olw’okuteekawo embeera esobozesa Bannayuganda bonna okubaako emirimu gyebakola egy’enkulaakulana ng’embeera eno esobozeseza abantu bangi okukola ennyo era nebatuuka ku nkulakulana.
Ate akulira IUIU ettabi erya Kampala Dr. Twaha Ahmed Kasule yagambye nti eggwanga okusobola okufuna abakozi abagya obulungi mu mulembe guno, emirimu gy’ebyemikono girina okuteekebwamu amaanyi kubanga giyamba abantu bangi okweyimirizaawo era nebawona okunoonya emirimu wabula nebasobola okugyetandikirawo.
Omukolo gw'obusiraamu
Dr. Kasule era yakuutidde abazadde wamu n’abasomesa ku mitendera egy’enjawulo okufaayo ennyo okuyigiriza abaana empisa ennungi ez’omubantu kubanga omukozi omulungi era aba alina okuba n’empisa ezigya mu bantu b’aba akoleramu.
Mu mukolo guno era kwabaddeko okuwa ebirabo abakozi ba IUIU abaasinze ku Bannabwe mu okukola obulungi mu mwaka gw’abakozi oguyise kyokka nebasaba buli mukozi okwongera amaanyi mu byonna byebakola okusobola okuleeta enkulaakulana eya nnamaddala ku yunivasite eno n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu.
No Comment