Agambibwa okusobya ku baana babiri Poliisi emugombyemu obwala
May 03, 2025
POLIISI ye Ssanga- Matugga mu divizoni ye Gombe mu Nansana munisipality ekutte ne ggalira omuvubuka eyasooberedde abaana babaliranwa be babiri n'abasobyako nga omu wa myaka etaano ate omulala wa mwaka gumu ne kitundu

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI ye Ssanga- Matugga mu divizoni ye Gombe mu Nansana munisipality ekutte ne ggalira omuvubuka eyasooberedde abaana babaliranwa be babiri n'abasobyako nga omu wa myaka etaano ate omulala wa mwaka gumu ne kitundu.
Akwatiddwa ye Sibomana Gean Batisita 30, nga mutuuze ku kyalo Buwoonzi ekisangibwa mu divizoni ye Gombe ono akwatiddwa ku kyalo oluvannyuma ly'okusobya ku baana babiri nga omu wa myaka etaano ate omulala wa mwaka gumu n'ekitundu.
Kigambibwa nti Batisita abadde mukwano gw'abaana bano era abazadde bangi ku kitundu babadde besiga omusajja Ono kyokka nga tebamanyi nti asobya ku baana bano.
Batista okumukwata kyavudde omu ku maama wa baana bano ayitibwa Nantale Hatika okusanga Batisita nga asibidde abaana bano mu nnyumba ye ekyabaviriddeko okumwekengera era nebayomba naye nga wano yabadde amaze okubakozesa.
Abazadde bano babuuzizza abaana bano nebannyonnyola engeri Batisita gyabadde abakozesaamu nga kumpi buli lunnaku abadde abakozesa nga ennaku ezimu abadde abakozesezza mu nnyumba ye ate ennaku endala abadde abakozeserezza mu bifulukwa.
Batista bweyategedde nti bamugguddemu yasazeewo okudduka ekyawalilizza abazadde okuddukira ku poliisi ye Ssanga eyakoze okunonyerezza okulaba nga bamukwata era mukaseera kano akuumibwa ku poliisi ye Ssanga.
Abatuuze mu kitundu kino bagambye nti omusajja Ono abadde mukwano gw'abaana baabwe naye ekisinga okwewuunyisa ennaku ezimu abadde abagulira bisiquit nga kati bali mukutya oba abaana baabwe ddala teyabakozesa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirano Luke Oyowesigyire yagambye nti omusajja Ono wakuvunanibwa mu mateeka era asabye abantu abenjawulo singa babe era baliko abaana abalala bebekengera nti yabasobyaako batwaale okwemulugunya ku poliisi ye Ssanga era nti wakuvunanibwa mu mateeka
Related Articles
No Comment