Katikkiro Mayiga yeebazizza Abalangira olw'okutandika okuwandiika ebitabo
May 03, 2025
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Bannayuganda okugenda mu maaso n'okuwandiika ebyo ebikwata ku ggwanga lyabwe, omulimu baleme kugulekera bagwiira.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Bannayuganda okugenda mu maaso n'okuwandiika ebyo ebikwata ku ggwanga lyabwe, omulimu baleme kugulekera bagwiira.
Mayiga agamba nti obutawandiika ku byaffe ebyawano, kujja kulekawo omwagaanya eri abawandiisi okuva mu Mawanga amalala okuwandiika ebyo byebasanga era byebaagala.
Okwogera bino yasinzidde Bulange-Mmengo nga April 24,2025 bweyabadde asisinkanye Omulangira Fredrick Walugembe eyamuleetedde ekitabo kye kyeyawandiika ng'ekimu ku bijjukizo by'ekijjaguzo ky'amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 70.
Mayiga yawadde eky'okulabirako eky'abazungu abaawandiika nti bwebajja kuno, Baali bazze kutugunjula ng'ate baali banoonya bya bugagga kugaziya makkolero gaabwe.
Katikkiro Mayiga era yeebazizza Omulangira Walugembe olw'okuwandiika ekitabo kino: Patriotism: A core principle to National Development n'awa n'abantu abalala amagezi okuwandiika ebyo byebalaba nti bisaanidde.
Ye Omulangira Walugembe nga Mutabani w'Omulangira George Micheal Ndawula ng'ono mukulu wa Kabaka Mutebi II ategezezza ng'okuwandiika ekitabo kino bweyamaze okulaba ng'empisa y'omwoyo gw'eggwanga bwekendedde mu bantu nga wetaagawo kaweefube okusobola okugukomyaawo.
Walugembe era yeebazizza Katikkiro Mayiga olw'okukunga abantu okwagala eggwanga lyaabwe ate n'okubakubiriza okukola mu ngeri eragira ddala nti alumirirwa eggwanga lye n'enkulakulana yaalyo.
Omulangira Walugembe yawerekeddwako Abambejja okuli Erone Mpologoma, Elizabeth Nantale, Zalwango Golooba ne Naava Nabasirye Wandera.
No Comment