Aba Famire batabuse ne bakoona ennyumba
May 04, 2025
ABANTU abatannaba kutegeerekeka balumbye ekyalo ne bakoona ennyumba z'abatuuze olwe nkayana ze ttaka eziri ku kyalo kino nga ennyumba ezikoneddwa zisangibwa ku kyalo Kikandwa e Migadde mu divizoni ye Gombe mu Nansana Munisipality.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU abatannaba kutegeerekeka balumbye ekyalo ne bakoona ennyumba z'abatuuze olwe nkayana ze ttaka eziri ku kyalo kino nga ennyumba ezikoneddwa zisangibwa ku kyalo Kikandwa e Migadde mu divizoni ye Gombe mu Nansana Munisipality.
Ennyumba ezikooneddwa zisoba mu mukaaga nga kigambibwa nti abantu bakedde ku makya nga obudde bukya ne bazikoona zonna ne zigwa ku ttaka nga ettaka lino liweza obugazi bwa yiika ssatu era olunaze okukoona ennyumba zino ne babulawo.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Fartumah Zawedde bagambye nti ettaka lino bbo bamanyi bulungi lya mugenzi Haji Abdul Kigungu Buloolo era mukufa yalirekera abaana be kyokka nga omuntu eyamuguza yamusaba asigaleko ku ttaka naye okuva Haji Buloolo bweyafa obutakkaanya enkayana bwezatandikira nga ettaka lino yaligula mu mwaka ogwa 2000.
Bano bagambye nti abasajja abazze babadde n'amajambiya ne batandika okukoona nga bwebabatisstisa nga bwebaddukidde ku poliisi ye Matugga tebafunye kuyambibwa kwonna.
Omu ku baana b'omugenzi Haji Swalik Kigundu Bulolo era nga ye Administrator wa Kigundu estate Muzida Ssali agambye nti ettaka lino balina ekyapa era basabye President Museveni,minister Sam Mayanja ne Rdc wa Wakiso Justine Mbabazi okubayamba.
Ye ssentebe we kyalo kino migadde- Godfrey Mayanja ategeezezza nga nabo abakulembeze bali mu kutya kuba babatiisatiisa era n'asaba bekikwatako okuyingira mu nsonga zino kuba ettaka lino bandiyiwa omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirano Patrick Onyango ku ssimu agambye nti waliwo fayiro ebadde etambula ku bantu abagambibwa okukoona ennyumba era nti bano olwabadde okukwatibwa ne batwalibwa mu kooti nga ye Mzee Kafumbirwango agambibwa okutunda ettaka lino kyokka n'alemerawo bamuyigga.
Related Articles
No Comment