Poliisi eyodde 30 mu Katanga ne baggalira

May 05, 2025

POLIISI e Wandegeya ekoze ekikwekweto mu Katanga mwekwatidde abateberezebwa okwenyigira mu bumenyi bwámateeka 30 ne baggalira.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI e Wandegeya ekoze ekikwekweto mu Katanga mwekwatidde abateberezebwa okwenyigira mu bumenyi bwámateeka 30 ne baggalira.
 
Kino kidiridde poliisi okukizuula nga abamenyi bámateeka bwebazzeemu okukung'aanira mu kitundu kya Katanga né bigendererwa ebyókuddamu okutigomya abantu nga babanyagulula.
 
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi ye Wandegeya yafunye amawulire nga waliwo abamenyi bámeteeka abali mu kabinja akamanyiddwa nga Kiggaali agenyigira mu kuteega abantu nékabanagulula , okumenya amayumba  ababadde bazeemu okukunganira mu kitundu kya Katanga.
 
"Ebikwekweto ebyakolebwa emabegako byavaako okukwata abamenyi bámateeka abawera ne batwalibwa mu makomera agenjawulo era obubinja mwebaali ne busanawo wabula olwayimbiddwa bazzeemu okukwatagana  baddemu okwagala okubba wabula poliisi yabanguyidde ne kola ekikwekweto ne kwata abamu ku bbo" Oyesigyire bweyategeezza.
 
Yagambye nti ku Lwomukaaga abaserikale ku poliisi ye Wandegeya basitukiddemu oluvanyuma lw'okutemezebwako nga bwewaliwo abamenyi bámateeka bwebazzeemu okukunganira mu Katanga ne bakwatayo 30  ne baggalirwa.
 
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});