Poliisi ekutte omusajja n’omutwe gw’eyali muganziwe n'emuggalira n’omusamize

May 05, 2025

Poliisi ekutte omusajja n’omutwe gw’eyali muganziwe n'emuggalira n’omusamize

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi ekutte omusajja n’omutwe gw’eyali muganziwe n'emuggalira n’omusamize

Poliisi e Mukono ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okufuna obutakkaanya ne muganziwe okukkakkana ng’amutemyeko omutwe n’agutwala okugukolerako ebyawongo ew’omusamize ate ekiwuduwudu n’akiziika mu nnimiro w'asula.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bbendebendo lya Kampala n’emiriraano, omugenzi ye Jackline Nyawede (25) abadde akola ogw’okutunda gonja mu katale e Namawojjolo sso ng’agambibwa okumutta y’abadde muganziwe Abu Muyagu (28) ng’ono ye abadde atunda mazzi mu katale ke kamu nga mutuuze ku kyalo Wakiso mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Onyango yategeezezza Bukedde nti Muyagu yakwatiddwa n’abantu abalala babiri okuli omusamize, Mubarak Kizito (34), ne James Bakkabulundi (28) nga bano bakuumirwa ku poliisi y’e Mukono.

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Namawojjolo East, Noah Katuka atwala ekitundu omuli akatale k’e Namawojjolo ababiri bano mwe babadde bakolera, mikwano gya Nyawede gy’ekubidde enduulu ku poliisi oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga tebamulaba.

Omwogezi wa poliisi Onyango yagambye nti poliisi y’e Mbalala etwala ekitundu ekyo yafuna okwemulugunya nti Nyawede tabula mu ngeri etategeerekeka nga April 27, 2025 olwo n’ebakana n’okunoonyereza.

“Bwe baanoonyereza ku ssimu y’omugenzi, baalaga ng’eyali muganziwe, Muyagu ye yali agirina wabula oluvannyuma essimu yavaako. Abasirikale b’abiteekamu engatto ne bagenda bakwata Muyagu era ono bwe yakwatibwa poliisi bwe yayaza enyumba ye yasobola okuzuula essimu y’omugenzi n’omutwe gwe nga guzingiddwa mu bigoye,” bwe yannyonnyodde.

Onyango yagasseeko nti oluvannyuma, Muyagu yasobodde okutwala poliisi mu kifo gye yali yaziika ekiwuwudu ky’omugenzi nga yali yakipakira mu bukutiya n’akisimira mu ttaka mu nnimiro okumpi n’ewaka we.

Okusinziira ku poliisi, ebitundutundu by’omubiri gwa Nyawede poliisi yabitutte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago abasawo okwongera okubyekebejja.

Ssentebe Katuka yategeezezza nti ku Lwomukaaga, ab’oluganda lw’omugenzi nga bava mu disitulikiti y’e Kibuku gy’azaalibwa baamutuukirira n’abasindika ku poliisi e Mbalala ng’eno baabakolera ebbaluwa ebasindika mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okusobola okufuna ebitundu by’omubiri by’omuntu waabwe bagende baziike.

Ye Onyango yagambye nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza nga mu kiseera kino bano bagguddwako gwa butemu.

Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Namawojjolo baategeezezza nti Nyawede yafuna obutakkanya ne Muyagu mu biseera by’ennaku enkulu eza Ppaasika nga waayita ennaku ntono n’abula ne bataddamu kumulaba ekyabaviirako okwekubira enduulu ku poliisi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});