Katikkiro Mayiga ategeezezza abakiise mu lukiiko e Mengo nti Kabaka gyali mu lubiri alamula Obuganda
May 06, 2025
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II gyali mu Lubiri lwe alamula Obuganda wakati mu kukola emirimu gye mu mpola mpola kyokka ayongera okuba obulungi

NewVision Reporter
@NewVision
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II gyali mu Lubiri lwe alamula Obuganda wakati mu kukola emirimu gye mu mpola mpola kyokka ayongera okuba obulungi...
Amawulire gano, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yagawadde olunaku lw’eggulo bweyabadde mu Lukiiko lwa Buganda olukulu ng’ayogera ku mbeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka..
Abamu ku Baami b'amasaza nga Bali mu lukiiko
“Kansooke okubategeeza nti Ssabasajja Kabaka gyali mu Lubiri lwe,ateredde ntende alamula Obuganda,” ebigambo bino Mayiga yabitegezezza abakiise ne bigobererwa emizira n’engalo okuva mu bakiise.
Yayongedde n’agamba nti “ Omutanda gyali alamula Obuganda,akola emirimu gye naye mpola mpola kubanga mbadde mbabulira bulijjo ndowooza Omutanda twamukozesa nnyo mu myaka egyo gyonna egikulembedde.”
Obuganda bubadde mu nyonta ey’okumanya ebifa ku Kabaka n’embeera mwali kati nga wadde bwali bwamulabako nga April 6,2025 mu Lubiri e Mmengo ng’asimbula emisinde gy’amazaalibwa ge, bwaali bwesunze okuddamu okumulabako nga April 13,2025 ku mukolo gw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 ogwali e Lubaga ate n’okuggulawo empaka z’ebika by’Abaganda e Wankulukuku nga May 3,2025,ekitaasobose.
“Kati bweyafunamu obuzibuzibu,abasawo ne bagamba nti mukendeeze. Awo nno emirimu agikola mpola mpola,ayongera okuba obulungi naye era abasawo bakyakola emirimu,” Mayiga bweyalambuludde ku mbeera y’obulamu Kabaka Mutebi II mwaali.
Mayiga yategezezza nga wiiki ejja May 12,2025 gigenda kuwera emyaka 12 bukya Kabaka amukwasa Ddamula okumulamulirako Obuganda. Yeebazizza Abalangira,Abakulu b’ebika,Baminisita,abakiise b’Olukiiko na bonna abamukwatiddeko mu buwereeza n’agamba kati waliwo enjawulo mu mirimu gy’Obwakabaka.
Olutuula luno lwe lwasoose mu lukiiko olw’omulundi ogwa 32 nga lwakubiriziddwa Omukubiriza waalwo, Patrick Luwaga Mugumbule eyasabye abakulembeze gyonna mu Buganda okuli ababaka ba Palamenti,Bannaddiini okujjumbira okwetaba mu lukiiko luno.
Mu kiseera kino,Mayiga yagambye nti Obwakabaka bulina emikago 23 egiruubirira okutumbula embeera z’abantu egiwerera ddala 23.
Ku ludda lw’ebyenfuna,Mayiga yagambye nti embeera tebadde mbi ng’embalira ya 2024/25 eri mu kumalirizibwa eyali ey’obuwumbi 257,tetambudde bubi.
Aba Famire ya Oweek Amb. William Matovu beetabye mu lukiiko
Katikkiro Mayiga yasinzidde wano n’asaba abaagala okwesimbawo mu bifo ebyenjawulo mu by’obufuzi nga bali Mmengo,okugoberera amateeka,ebiragiro n’ennambika y’Obwakabaka.
“Denis Bugaya,Omwogezi wa Buganda Land Board abadde agenda kwesimbawo e Mawokota South, naye nnamugambye agira alindako nga bwagira awereeza Kabaka we. Emirimu egiri mu kitongole kino mingi ate nga nnabuuzizza Mukama we oba alina gwaleseewo nga tewali,” Mayiga bweyagambye.
Yamukirizisizza okusigala ng’akola emirimu gy’obwakabaka kubanga akyali muto ng’asobola okwesimbawo,ekiseera kyonna.
Ku ludda lw’ebyobulambuzi,Mayiga yayanjulidde olukiiko Omukungu Najib Nsubuga akuuma entebe y’akulira emirimu mu kitongole ky’eby’obulambuzi mu Bwakabaka era n’ategeeza nti mu masiro e Kasubi,bali mu kwegezaamu okulaba emirimu bweginatambula nga gagguddwawo.
Ku nsonga endala ezigenda mu maaso mu Uganda naye nga zikwata butereevu ku Buganda, Mayiga yavumiridde okutulugunya bannansi n’okutyoboola eddembe ly’obuntu erigenda mu maaso okuli okukwatibwa kw’Omuyambi wa Pulezidenti wa NUP,Robert Kyagulanyi Ssentamu,Edward Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe n’asaba ayimbulwe.
Mayiga yawadde gavumenti amagezi nti bwebeera yakutumbula nkulakulana esaanye ekulembeze ensonga taano; okuli okukola enguudo,Okusaanyaawo ebikozesebwa ebijingirire ebiri ku katale,Okwongera omutindo kwebyo ebirimibwa n’ebyobulunzi olw’okufuna akatale Okubunyisa amasanyalaze n’amazzi mu byalo ate nga biri ku bbeeyi ensaamusaamu Okunyweza omutindo ku buli kintu ekikolebwa mu Uganda.
Mayiga yagambye nti Uganda okukula,tekyetaaga kugabira bantu bbaasa wabula okukola ku nsonga ezo era n’asaba gavumenti eteeke ensimbi mu nteekateeka y’Emmwanyi Terimba nga bweyagabira abamu ku bantu obuwumbi bw’ensimbi okutumbula okunywa kaawa.
No Comment