Olukiiko lwa Buganda lukungubagidde Amb. Matovu
May 06, 2025
OLUKIIKO lwa Buganda luyisizza ekiteeso ekyebaza emirimu egy’enjawulo egikoleddwa omugenzi Amb. William Matovu okuli okuweereza Kabaka we obuteebalira.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUKIIKO lwa Buganda luyisizza ekiteeso ekyebaza emirimu egy’enjawulo egikoleddwa omugenzi Amb. William Matovu okuli okuweereza Kabaka we obuteebalira.
Ekiteeso kino kyasomeddwa Minisita w’Olukiiko, kabineeti n’abagenyi, Noah Kiyimba mu lutuula lw’Olukiiko olwatudde olunaku lw’eggulo oluvannyuma lw’ekiteeso ekyaleeteddwa Omwami w’essaza ly’e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisirizza.
Amb. Matovu yafudde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga May 2, 2025 mu ddwaaliro e Nakasero gy’amaze akabanga ng’ajjanjabibwa.
Amb. Matovu yaliko omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama, Minisita w’Enkuluze, Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Katikkiro era w’afiiridde abadde Mmemba ku lukiiko olufuzi olw’ekitongole kya Kabaka Foundation.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yataddewo akakiiko okukola ku nsonga z’okuziika omugenzi nga kakulirwa Minisita Kiyimba nga ku bammemba kuliko n’akulira emirimu mu Kabaka Foundation, Edward Kaggwa Ndagala.
“Omugenzi abadde mumanyi waffe ku nsonga z’Obwakabaka nnyingi okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II era ku nsonga nnyingi tubadde tumwebuuzaako,” Mayiga bwe yayogedde ku mugenzi.
Katikkiro Mayiga era yayanjulidde olukiiko aba famire y’omugenzi abazze okwetaba mu lukiiko luno n’ategeeza nti omugenzi agenda kusabirwa mu Lutikko e Namirembe ku Lwokusatu okutandika n’essaawa 6:00 ez’emisana, aziikibwe ku Lwokuna mu makaage e Mpala -Ntebe mu Busiro ku ssaawa 8:00.
Abamu ku ba ffamire ababadde e Mengo Timothy Mulindwa Muwonge, Kaiser Matovu, Timothy Yiga, James Mulindwa Kiwomutemero, Fred Lubega Bagomose, Catherine Mwesigwa, Sarah Nalule Kabaale ne Louise Namatovu.
Mu kwogera ku mugenzi, Kiberu yeebazizza famire y’omugenzi olw’okumukwatirako mu mirimu emingi gy’akoledde
No Comment