Ogw’ebyapa 50 guleebuukanya bbulooka w’ettaka Kamoga
May 06, 2025
OMUSUUBUZI w’ettaka Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants agasimbaganye ne munnamateeka gwe yali alumiriza okutwala ekyapa ky’ettaka lye bamubanja, kkooti n’emulemerako okuleeta ebyapa 55 ku ttaka erisangibwa e Garuga.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUUBUZI w’ettaka Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants agasimbaganye ne munnamateeka gwe yali alumiriza okutwala ekyapa ky’ettaka lye bamubanja, kkooti n’emulemerako okuleeta ebyapa 55 ku ttaka erisangibwa e Garuga.
Bannamateeka ba Andrew Nganda Bugingo ababanja Kamoga ebyapa baasoose kuteeka Kamoga ku nninga annyonnyole kkooti gye yateeka ekyapa ky’ekitundu ku ttaka kye yali alumiriza nti munnamateeka Zack Olowo ye yakitwala okuva mu kkooti.
Kamoga yalumirizza nti Olowo yaakirina kyokka Zack yamujjukizza nti ekyapa ekiri mu kkooti kyali tekimalaayo ttaka lyonna erimubangibwa. Olowo yategeezezza kkooti nti Kamoga yakola olukujjukujju n’awaayo ekyapa ky’ettaka nga yeewadde ettaka ddene ku eryo lye baali bakkiriziganyaako erya yiika 9.719.
Kamoga mu ndagaano gye bakkiriziganyaako ne Bugingo yakkiriza okuwaayo ebyapa abantu 30 abaalina ebibanja ku ttaka eryo ng’amaze okulisalamu n’okulipunta era yakkiriza okuwa Bugingo yiika emu okuva ku mugabo Kamoga gwe yafuna ng’obuguzi bw’ettaka eryo buwedde.
Mu ndagaano gye bakkiriziganyAako, bannamateeka baasomedde kkooti nti Kamoga yaleetako ebyapa 31 eby’ettaka lya yiika 8.15 mu kifo kya yiika 15 nga bwe kyali mu ndagaano.
Okusinziira ku ndagaano gye baateeka mu kkooti, Kamoga abanjibwa yiika 6.5 ze baagala aleete ebyapa byazo 24.
Bannamateeka ba Bugingo okuli Anthony Tomusange ne Olowo baateegezezza omulamuzi Christine Namutebi nti, Kamoga byonna awamu bamubanja ebyapa 55 okuggyako ekyapa kimu kye yawa Bugingo ekyettaka erisangibwa e Busiro block 432 Plot 864.
Omulamuzi yabuuzizza Kamoga oba ebyapa ebyayogeddwaako abirina, wabula n’agamba nti tabirina .
Bannamateeka ba Bugingo baasabye kkooti Kamoga asindikibwe mu kkomera kubanga yakkiriza okuwaayo ebyapa ate kati yeefuula ng’ate akakasizza nti n’ebyapa tabirina noolwekyo asibwe.
Bannamateeka ba Kamoga okuli Alex Kamukama ne Bena Nakyeyune baasabye kkooti eyimirize okuwulira omusango guno kubanga baddukidde dda mu kkooti ejulirwamu etapute ezimu ku nnyingo eziri mu ndagaano Kamoga gye yakola ne Bugingo okuwaayo ebyapa, noolwekyo omusango guno teguyinza kutambula ng’ate waliyo bye bagala okwekenenya.
Kyokka omulamuzi Namutebi yategeezezza nti tebalina kubaako kya njawulo kye basuubira mu kujulira kwe baataddeyo kubanga ensonga zaabwe tezirina muzinzi. Omulamuzi yabawadde olwa June 16, 2025 okuddamu
No Comment