Akakuku ka Mpuuga ne Kyagulanyi kattuse
May 08, 2025
OKUKWATIBWA kw’omukuumi wa Bobi Wine, Edward Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe kuzuukusizza akakuku ka pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’eyali omumyuka we mu Buganda era eyali akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUKWATIBWA kw’omukuumi wa Bobi Wine, Edward Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe kuzuukusizza akakuku ka pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’eyali omumyuka we mu Buganda era eyali akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga.
Kyagulanyi bwe yabadde ku kitebe kya NUP e Kavule ku Lwokubiri yategeezezza nti Mpuuga ne Dr. Abed Bwanika be bali u lukwe lw’okusibisa abawagizi ba NUP nga beekobaana n’abantu ab’enjawulo omuli n’okubuzaabuza bannamawulire ne baggula emisango ku bawagizi be.
Kyagulanyi yagasseeko nti, n’emisango gy’ebijambiya egyaggulwa ku Allan Ssewanyana (Makindye West) n’omugenzi Mohammed Ssegirinya baagirinamu
omukono. Mu ngeri y’okwongera okukakasa bye yabadde ayogera, yakwasizza Ssewanyana akazindaalo ebigambo abyeyogerere nga bwe byali.
Ssewanyana bwe yakutte akazindaalo yalumirizza Mpuuga n’abakulembeze abalala nti
baali mu lukwe lw’okubasibisa ku misango gy’ebijambiya. Yabadde tayogedde linnya kyokka Kyagulanyi n’amutegeeza nti amenye amannya g’abantu b’ayogerako era n’ayogera Mpuuga.
MPUUGA ATWALA KYAGULANYI MU KKOOTI
Eggulo, Kyagulanyi yabadde Masaka gye yagenze okulaba Eddie Mutwe mu kkomera gy’apooceza, ate Mpuuga ng’ali mu Palamenti mu lukiiko lwa bannamawulire
lwe yatuuzizza ne yeewera okukuba Kyagulanyi mu kkooti olw’okumwonoonera erinnya.
Mpuuga yeewuunyizza Kyagulanyi okuttattana erinnya n’ekitiibwa kye n’ategeeza nti ku bintu byonna bye yakola okulwanirira abasibe mu palamenti ng’aboogerera, okubalambula mu makomera, okwewuuba mu kkooti, n’okuteekamu ssente ze
okulaba nti bayimbulwa, wabula bamusasuddemu kulinnyirira kitiibwa kye.
“Nsirise ebbanga ddene nga Kyagulanyi atyoboola n’okunninnyirira naye kino kye
kiseera tugasimbagane mu kkooti.
Mmaze okulagira bannamateeka bange bategeke buli kimu kkooti eyambe okukomya ejjoogo erisusse,” Mpuuga bwe yagambye.
EMBEERA YA EDDIE MUTWE
E Masaka, Kyagulanyi yagenzeeyo n’abakulembeze ba NUP ab’oku ntikko okuli akulira oludda oluvuganya era omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi, ssaabawandiisi Lewis
Rubongoya n’abalala. Yayogedde ku mbeera ya Eddie Mutwe n’agamba nti yatulugunyizibwa nnyo n’okukubwa nga yeetaga kutwala mu ddwaaliro ajjanjabwe
n’emisango gye yayogeddeko nti mijweteke gimuggyibweko.
Balooya ba NUP baakulembeddwa George Musisi baategeezezza nti bagenda kuddukira
mu Kkooti Enkulu balwanirire eddembe ly’abakwate okuli ne Eddie Mutwe.
No Comment