Kabaka atenderezza ambasada Matovu

May 08, 2025

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II atenderezza Amb. William Matovu olw’obuweereza bwe eri Obwakabaka naye ng’omuntu n’agamba nti busaana okukoppebwa abantu bonna.

NewVision Reporter
@NewVision

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II atenderezza Amb. William Matovu olw’obuweereza bwe eri Obwakabaka naye ng’omuntu n’agamba nti busaana okukoppebwa abantu bonna.
Obubaka bwa Kabaka bwasomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusaba kw’okwebaza Katonda  olw’obulamu bwa Amb. Matovu okwabadde ku Lutikko e Namirembe eggulo.
“Twegatta ku benganda  n’emikwano okukungubagira mukwano gwaffe atambudde naffe mu lugendo lw’okunyweza Nnamulondo n’okuzimba Obwakabaka. Ebbanga
lyonna awatali kweganya, omugenzi akoze n’obumalirivu n’obuvumu awatali kutiiririra Nnamulondo ate mu ngeri eweesa Obwakabaka ekitiibwa,” Obubaka bwa Kabaka
bwe bwasomye.
Yayogedde ku mugenzi  ng’abadde omumanyi w’ebyafaayo by’Obwakabaka okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, era abadde yeenyigira butereevu mu kulung’amya n’okuwabula awatali kutya ku buli nsonga yonna ekwata ku Nnamulondo,
Abalangira, Abambejja wamu n’Obwakabaka.
Katikkiro Mayiga yagambye nti Amb. Matovu yaweereza bulungi  mu Gavumenti ya Kabaka mwe yatandikira ng’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofi isi ya
Katikkiro, omuwandiisi ow’ekyama owa Kabaka, minisita w’enkuluze n’ebyokwerinda ate n’okubeera  mmemba ku lukiiko olukulembera ekitongole kya Kabaka Foundation.
Olw’okusiima emirimu gye eri Obwakabaka, Mayiga yalagidde baminisita abaabaddewo okuli Noah Kiyimba, Robert Sserwanga n’abalala okuteeka bendera ya Buganda ku kkeesi omwabadde omubiri bwe.
Ku lw’abaana b’omugenzi,  Louis Namatovu yeebazizza kitaabwe olw’okubakuza obulungi n’amwogerako ng’abadde omusajja ow’empisa mu buli kyakola.
Owoomutuba gwa Kajjabaga mu ssiga lya Mateega e Ngomannene e Gomba, omugenzi mw’abadde ava, Timothy Muwonge yategeezezza nga Amb. Matovu bw’abadde omumanyi gye bali ku nsonga z’Ekika kyabwe.
  Omulabirizi wa West Buganda eyawummula, Henry Katumba Tamale ye yabuulidde  n’ajjukiza abantu okwekwata ku Katonda bawone okuvunaanibwa omusango. Agenda
kuziikibwa leero e Mpala, Ntebe mu maka ge.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});