Ettaka libuutikidde abadde akola oluguudo e Salaama
May 08, 2025
ABAKOLA oluguudo lwa Salaama - Munyonyo baguddemuekyekango, munnaabwe ettaka bwe libumbulukuse ne limubuutikiran’afa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKOLA oluguudo lwa Salaama - Munyonyo baguddemu ekyekango, munnaabwe ettaka bwe libumbulukuse ne limubuutikira n’afa.
Afudde yategeerekeseeko lya Kevin, 29, ng’abadde akola ne kkampuni ya CR18 eyaweebwa omulimu okukola oluguudo lw’e Salaama.
Ettaka lyamubuutikidde ku Lwakubiri ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi.
Kigambibwa nti omugenzi yabadde akola ne banne nga basima ekinnya mu zooni ya
Ponsiano nga bateekayo emitayimbwa ettaka we lyabumbulukukidde
ne libayiikira n’afi irawo. Ssentebe wa LC I owa Ponsiano zooni, Nicholas Ssessanga,
yagambye nti, kontulakita omulimu agukoze kasoobo ng’ate ebinnya bye basima n’ebiseminti ebyateekebwa mu luguudo babireka wakati era abavuga
ebidduka basanga obuzibu.
Ekirala oluguudo tekuli mataala nga mu budde bw’ekiro obubenje bungi obugwawo olwa baddereeva obutalaba bulungi.
No Comment