Abaserikale 3,444 bafulumiziddwa, Museveni n’alagira poliisi ku misango gy’ettemu n’enguzi
May 08, 2025
PULEZIDENTI Museveni alagidde poliisi okwongera amaanyi mu kunoonyereza ku misango gya bika bisatu gy’agamba nti gisusse mu ggwanga n’okukwata abagyenyigiramu.

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI Museveni alagidde poliisi okwongera amaanyi mu kunoonyereza ku misango gya bika bisatu gy’agamba nti gisusse mu ggwanga n’okukwata abagyenyigiramu.
Mu bubaka bwe yatisse minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. David Muhoozi ku mukolo gw’okufulumya abaserikale 3,444 mu ttendekero lya
poliisi e Kabalye, Masindi Pulezidenti Museveni yalagidde poliisi okunoonyereza ku misango okuli ettemu, obuli bw’enguzi, obulisamaanyi n’okusobya ku baana
abatanneetuuka.
Pulezidenti Museveni yagambye nti abantu bwe bawulira nti emisango nga ettemu gyeyongedde nnyo gibakanga n’alagira poliisi okulaba ng’abeenyigira mu ttemu bakwatibwa bavunaanibwe era nga na kino kisaana ne ku balya enguzi esabwa
bannabyabufuzi ssaako n’abakozi ba gavumenti kuba balemesa eggwanga okukulaakulana. Ku misango gy’okusobya n’okukwata abakazi, Pulezidenti
Museveni yagambye nti gikosa n’okuweebuula abakoseddwa nga poliisi erina okwongera amaanyi mu kuginoonyerezaako n’okukwata abagyenyigiramu bavunaanibwe. Gen. Muhoozi yasabye abaserikale abatendekeddwa okukuuma empisa ku mirimu mu bitundu gye bagenda okutumwa n’okukolaganira awamu
n’okubeera n’enkwatagana n’abantu be bagenda okuweereza. Amyuka omuduumuzi wa
poliisi mu ggwanga, James Ochaya yagambye nti omuwendo gw’abapoliisi abafulumiziddwa guyambye okwongera ku bungi bw’abaserikale nga kati baweze
50,816 wonna mu ggwanga ate nga bawandiika abalala 10,000 abagenda okutandika okutendekebwa mu June 2025. Yagambye nti kati poliisi yeetegese bulungi okukuuma
obutebenkevu mu kalulu ka 2026. Akulira ettendekero ly’e Kabalye mu Masindi, Ezekiel Emitu yagambye nti abaserikale abaafulumiziddwa batendekeddwa mu bintu ebyenjawulo omuli okukwasisa amateeka, okukuuma eddembe ly’obuntu n’ebirala.
No Comment