Engeri abayizi ba Emmanuel College Kazo gyebenyumiriza mu mmisa ya Kulisima

May 09, 2025

Abayizi ba Emmanuel College Kazo (erisangibwa mu divizoni y’e Kawempe) bongedde okukakasa ensi nti essira tebalitadde kukusoma bitabo kwokka, naye n’ebya Klezia babiwa enkizo

NewVision Reporter
@NewVision

Abayizi ba Emmanuel College Kazo (erisangibwa mu divizoni y’e Kawempe) bongedde okukakasa ensi nti essira tebalitadde kukusoma bitabo kwokka, naye n’ebya Klezia babiwa enkizo.

Chrism

Chrism

Abayizi bano abali mu myaka egy’ekitiini beewunyisizza Abakristu bwebakulembeddeemu okuyimba mu mmisa y’okutukuza omuzigo (oba mmisa ya Kulisima) eyabadde mu Lutikko e Lubaga ku Lwokuna Olutukuvu. Missa eno y’emu kumikolo egyikulembera olw’Amazuukira, era nga Omwepiskoopi w’essaza mw’atukuliza omuzigo Abasaserdooti gwebakozesa okuwa Abakristu Amasakramentu. Onuzigo guno kuliko ogwa Kulisima, ogw’Abalonde, n’ogw’Abalwadde. Missa eno era esomebwa okujjukira olunaku Yezu Kristu lweyateekawo Essakramentu lya Orodiini, n’erya Ukaristia, era nga akalombolombo kaayo, Abasaserdooti beebungulula Omweoiskoopi waabwe, nebaddamu okumulagaanya obuwulize.

Mmisa eno abayizi ba Emmanuel College Kazo ggwe wamma baajinyumisizza nebakamala. Baayimbye ennyimba Abakristu abasinga obungi zebamanyi, nga nnyangu, kyokka nga mpoomu, eky’asobozesezza Abakristu okuyimbira awamu nabo. Muzino mw’abaddemu Nga nnungi (lwa faaza James Kabuye), Bring to the Lord (olwatereezebwa Michael Mukisa), ne Mirembe Omukama.

Chrism

Chrism

Ng’ojjeeko eky’okuyimba obulungi, abayizi bano era beetabye n’emumukolo ogw’okutwalira Ssabasumba Ssemogerere omuzigo, ate era beebaatonye ebirabo ngabakulemberwamu Ssabasumba Headimasta waabwe Paulo Kigubam n’omumyuka we Ritah Opio. Omukolo baayongedde okugunyumsia ne bbandi ey’amagwala. Abakristu era baasimye nnyo abayizi b’essomero lino Abazaveeri, bakira abalambika obulungi abantu.

Missa y’akulembeddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere ng’ali wamu ne Ssabepiskoopi Dr Augustine Kasujja (Omubaka wa Paapa eyawummula), Viika-Genero Msgr Rogers Kabuye, Bwanamukulu wa Lutikko Faaza Achilles Mayanja, n’Abasaserdooti abasukka mu 200.

Ebirala eby’abaddewo

Abaseminariyo 7 okuva mu St Mbaaga’s Major Seminary Ggaba, St Paul’s National Seminary Kinyamasika, ne St Mary’s National Seminary Ggaba beesimbyewo okulinnyisibwa ku ddaala ery’Obudyankoni.

Abasaserdooti Abafere

Abakristu baategeezeddwa nti waliwo abafere abeefuula Abasaserdooti, nebagenda mu Bakristu nebabasomera mmisa ez’empwo, nebakuliita n’ebirabo. Abalala beefuula abakola ne Ssabasumba Ssemogerere mubitongole by’essaza, nabo nebanyaga Abakristu. Omuwandiisi omukulu ow’essaza, Faaza Dr Pius Male y’awandiikidde Abasaserdooti n’Abakristu ng’abalabula kubafere bano. Y’annyonnyodde nti Ssabasumba bw’aba alina ssente zeyeetaagA okubaako ky’akola, awandiikira Ab’Akristu ebbaluwa entongole, era n‘esomwa mu lujjjude ng’ekibiina ky’Abakristu kikungaanye.

Ng’ojjeeko abafere, Abakristu era baalabuddwa neku Basaserdooti bakiwagi Abepiskopi baabwe beebaayimiriza okusoma mmisa n’okuwa Amasakramentu, abajja mu Kampala nebagenda mumaaso n’okukola emirimo gy’Obusaserdooti mu ngeri emenya amateeka ga Klezia.

Ssabasumba Ssemogerere Abakristu y’abawadde amagezi, omuntu bw’ajja gyebali n’abagamba nti Musaserdooti kyokka nga tamanyiddwa, bamugambe asooke abawe obukakafu obulaga nti Musaserdooti, era alina olukusa okusoma mmisa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});