Omukululo gw’okuzimba entindo tugulengera mu Paapa Leo XIV omuggya

May 10, 2025

WADDE nga bulijjo Katonda atuwa abasumba b’eggana lye, omukululo gwa Paapa Fransinsi tunaalwaawo nga tugujjukira, olw’omutima gwe omugazi ate omuggule eri buli ayitibwa omuntu. Eby’ettutumu byonna by’asobodde okutuukiririza mu bukulembeze bwe, byoleka omuntu yenna bw’abeera ng’akolaganye bulungi n’eneema ya Katonda.

NewVision Reporter
@NewVision

WADDE nga bulijjo Katonda atuwa abasumba b’eggana lye, omukululo gwa Paapa Fransinsi tunaalwaawo nga tugujjukira, olw’omutima gwe omugazi ate omuggule eri buli ayitibwa omuntu. Eby’ettutumu byonna by’asobodde okutuukiririza mu bukulembeze bwe, byoleka omuntu yenna bw’abeera ng’akolaganye bulungi n’eneema ya Katonda.
Kimanyiddwa nti enneema ya Katonda tetyoboola kitiibwa n’ekikula ky’omuntu, wabula ezimbira okwo, n’emusobozesa okuzimba obwakabaka bwa Katonda. Era enneema eyo y’eyamba Klezia okukulaakulana, sso ng’esigadde ku musingi gw’egumu ogw’Abatume, Kristu kwe yagizimbira. Omwo mwe mufumgamye ekyama ky’olujegere lwa Bapaapa olutakutuka, okuviira ddala ku Petero. Awo nno, Paapa owa 267 naye ajja kukola omukululo ogugwe, naye nga tamenyeewo gwa munne, oba banne abaamusooka.
Omukululo gwa Paapa Fransinsi gwesigamye nnyo ku nkolagana n’abantu ab’eddiini ez’enjaawulo. Yadde nga kino kibaddewo okuviira ddala ku Lukiikko lwa Vatikano II, naye Paapa Fransinsi ensonga eno agitadde ku ddaala essuumuufu.
Omusumba Brian Farrell, eyalwa mu kitongole kya Paapa ekikwata ku nkolagana n’eddiini endala, ajulira nti Paapa Fransinsi yaluubiriranga nnyo ekitongole kino okukitambuliza ku kulokola omuntu okusinga okukubaganya ebirowoozo ku miramwa gy’eddiini oba telogiya. Enkola ye eno yayamba nnyo okusembesa abantu aba buli nzikiriza, nga tebeekokoota.
Okusinziira ku Paapa Fransisi, abantu fenna twenkana mu maaso ga Katonda, era fenna tuyaayaana okumulaba maaso ku maaso; n’olwekyo, tuli balamazi ku lugendo lwe lumu. Amangu ddala nga yakafuuka Paapa, yatandikirawo okuzimba entindo, mu kifo ky’ebisenge, ayanguyize abantu okwenyumiririza mu bwa sseruganda.
Paapa Fransinsi Kleziya abadde agiyita eddwaaliro ery’abalumiziddwa mu lutalo’, era ng’eteekeddwa okwanguyiza obujjanjabi obusookerwaako eri buli omu, nga tesoose kumubuuza kana n’akataano. Mu ngeri y’emu, Paapa abadde agamba nti fenna tuli balamazi abeetaaga okugirirwa ekisa. Tuganyulwa mu kutambulira awamu, okwegayirira awamu, n’okukolera awamu, ebyo ebitugatta. Kino kitegeeza ebirowoozo byaffe kubyolekeza Katonda.
Paapa abadde yettanira nnyo okwaniriza n’okuwulizaganya n’ab’eddiini zonna, tusobole okufuna emirembe egyannama ddala. Ebirowoozo bye bisangibwa mu baluwa ye eyitibwa “Fratelli tutti” (Abantu fenna tuli ba luganda). Okussa mu nkola endowooza ye, Paapa yabisaamu engatto, n’akyala e Abu Dhabi mu February 2019, gye yassa omukono ku kiwandiiko namutaayiika, ng’ali wamu ne Yimamu omukulu Ahmad Al-Tayyeb, ekyogera ku kuleetawo emirembe, nga tuyita mu bwa sseruganda.
Paapa yatindigga olugendo olulala e Swedeni, n’ajaguliza wamu n’abakulistayo emyaka 500 egy’enkyukakyuuka ezaleetebwaawo Martini Luteri. Kino kyali kya byafaayo nnyo era nga kya bwetowaze, mu bwa Paapa, ku lw’obulungi bw’entabagana. Era kinajjukirwa nti Paapa, ng’ali ne Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Bungereza, yawa olusirika eri bakulembeze ba Sudani. Ku olwo Paapa yanywegeraebigere byabwe, okubakubiriza balowooze nnyo ku kuleetera abantu be bakulembere, emirembe.
Mu mutima ogwa Fansinsi owa Assisi Omuttukrivu, Paapa Fransinsi yafuba nnyo okugendera ku ebyo ebigatta abantu, okusinga ebibaawula. Mu bukulu bwe nga Paapa ow’e Roma, yali atuukirikika, nga tasobeza yadde okulengeza omuntu yenna, nga n’abakulembeze banne mw’abatwalidde. Enkola eno yasikiriza bangi, n’efuuka eky’okulabirako eky’omusumba omulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});