Abatuuze b'e Lubya baweereddwa amagezi ku bumenyi bw'amateeka

May 12, 2025

ABAKULIRA ebyókwerinda mu muluka gwa Lubya balabudde abatuuze mu kitundu kino okwerinda obubinja bwábamenyi bámateeka obuzeemu okuteega abantu mu makubo nókubalondoola nebubabba nga bweyambisa ebijambiya

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKULIRA ebyókwerinda mu muluka gwa Lubya balabudde abatuuze mu kitundu kino okwerinda obubinja bwábamenyi bámateeka obuzeemu okuteega abantu mu makubo nókubalondoola nebubabba nga bweyambisa ebijambiya.
 
Akulira poliisi ye Wakasanke IP   James William Kau bwe yabadde ayogera eri abatuuze bé Masanafu Kinoonya zooni mu Lukiiko  lwékyaalo yagambye nti obubinja bwábamenyi bwámateeka obutambula námajjambiya busitudde buto nga butega abantu nebubatema nókubanyagulula.
 
Yagambye nti emabegako wabaddewo okumenya amayumba gábantu nebababba wabula nga emiango gino gikenedde nga kati ate okutema abantu nókubanayagulula kwekusitudde obyto nga bagakufuna emisango 4  ku poliisi nga abantu babatemye nebabanyagulula.
 
"Njagala okubategeza nti waliwo obubinja bwábabbi obutandise okuteega abantu nga buina ebijambiya nebubatema nébubabba era mbasaba mubwegendereze kuba waliwo abatusiddwako ebisango nga bino byonna bibaddewo mu wiiki 3" Kau bwe yategezezza.
Yategezezza nti obubinja buno buteega abantu mu bifo ebyekusifu  nga era nga abantu abatusiddwako ebisago babibwako simu nga abamu baba bagezaako okubalwanyisa nasaba abantu obutagezaako okubalwanyisa.
 
Ssentebe wékyaalo Sepiriya Kabuuka yategezezza nti ku kyaalo kuno kuliko obubinja bwábamenyi bwámateeka nga obumu bulimu abaana abazaliddwa ku kyaalo nga bayogeddeko nébazadde babwe okubakomako kyokka tebafuddeyo.
Yagambye nti obubinja obumanyiddwa kuliko Wakanda, Dog zero, Kanabisi, Gaba Island nga abamu kubali mu bubinja buno bava ku byaalo ebirinaanyewo.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});