‘Abasse Rcc Mwase tugenda kubakwata

May 16, 2025

OFIISI ya Pulezidenti egumizza famire n’abantu b'e Busoga nti agenda kukolabuli ekisoboka okukwata abatemu abasse omumyuka wa RCC w'e Lira, Karim Mwase, 35.

NewVision Reporter
@NewVision

OFIISI ya Pulezidenti egumizza famire n’abantu b'e Busoga nti agenda kukola
buli ekisoboka okukwata abatemu abasse omumyuka wa RCC w'e Lira, Karim Mwase, 35.
Mwase yatemuddwa mu kya Ssande nga May 11 ne basuula omulambo gwe ku
kyalo Nakalama ku luva e Iganga okuda e Bugweri. Okuwera kuno kwakoledwa
omuwandiisi ow'enkalakkalira owa ofiisi ya Pulezidenti, Haji Yunus Kakande mu bubaka bwe bwamusomeddwa amyuka komisona avunaanyizibwa ku byensimbi mu ofiisi ya Pulezidenti Sadat Kisuyi mu  kuziika omugenzi Mwase e Bukasozi mu kabuga Idudi.
Kakande yagambye nti okuttibwa kwa Mwase ddibu ddene kuba abadde mukozi
gwe beenyumirizaamu era baakukolagana n’ebitongole by’ebyokwerinda okuzuula
abatemu. RDC w'e Bugweri, Banuli Magala yalumirizza nti ettemu lyekuusa ku byobufuzi mu kitundu nti kuba naye mu kiseera kino waliwo abamutiisatiisa
okumutta.
RCC w’ekibuga Jinja, Richard Gulume eyasomye alipoota y’okufa yalaze ng’omugenzi bwe baamunyoola ensingo. Yalaze okunyolwa olw’okutta munnaabwe n’akigeraageranya ku kukuba ejjinja mu njuki.
Kitaawe w’omugenzi Abdukarim Ndifuna yalaze okunyolwa olw’okutta mutabani we n’asaba RDC Wandera ne Gavumenti waakiri okuwala omwana we omulala omulimu ogwo kuba alina bangi abaasoma wabula nga tebalina mirimu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});