Nnaalongo agenze mu kkooti emuggyeko ssaalono olw'okumulemesa buli musajja gw'afuna
May 16, 2025
Nalongo ayagala bamwawukanye ne Ssalongo olw'okumulondoola n'amulemesa buli musajja gw'afuna ensoga azongeddeyo mu kooti.

NewVision Reporter
@NewVision
Nalongo ayagala bamwawukanye ne Ssalongo olw'okumulondoola n'amulemesa buli musajja gw'afuna ensoga azongeddeyo mu kooti.
Agenze ku kooti emusalire amagenzi eteekewo n'ekiragiro ekikugira Ssalongo obutaddamu kusemberera nalongo.
Wabula Ssalongo afunvubidde ku kuzzaayo Nalongo mu maka gyeyanoba emyaka ebiri n'ekitundu nga aleseeyo abaana mukaaga.
Nalongo Barbra Nantale yasooka kuloopye mu ofiisi ya Collins Kafeero Kafeero atwala amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu nga asaba amwawule ne Ssalongo Byakatonda Moses asobole okutebenkera n'omusajja we omupya gwe obwedda gwayogerako erya Chris.
Nalongo agamba nti emyaka 18 gyebamaze okuva lwe baabawoowa abanjizza Ssalongo amahare gaamulema.
Ssalongo awadde ensonga ze nti bukya Nalongo anoba awasizza abakazi mukaaga abalina emize egya buli kika mpozzi omusezi gw'atannafuna.
Ensonga endala Ssalongo gy'awadde nti okuva Nalongo lweyanoba, Ssalongo agwa mu kkava n'alaba abasajja engeri gye bawuuba Nalongo ne yenyamira era asomye olukalala lwa basajja 14 abasuubuzi n'abavuga boda mu Kayunga abeeserejja mu muzigo gwa Nalongo.
Bano tubasanze mu ofiisi y'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu ekulirwa Collins Kafeero, Nalongo gyeyaloopye nti Ssalongo agaanye okumwesonyiwa sso nga ye Nalongo yasalawo okutambula n'amuviira atandike obulamu obupya.
Abaagalana bano batuuze ku kyalo Kisawo mu Kayunga town council mu disitulikiti y'e Kayunga nga Nalongo alina saluuni ekola n'okusiba enviiri ate Ssalongo musiizi wa langi.
Nalongo atubuulidde nti ekyamunobya ewa Ssalongo,obuvunanyizibwa bw'omu maka bumulemye n'okusingira ddala okuleeta ebyetaago n'obutasomesa abaana era nti Ssalongo yewana na kimu kya sitamina.
Nalongo agambye nti yamaze okwezimbira enyumba era n'afuniramu omusajja omupya n'olwekyo Ssalongo akkirize nti essuula (chapter) yaggalwawo.
Ssalongo alabudde Nalongo nti singa takyisa kudda mu maka, agenda kwongera kufuuka bakimpe nkyekubire.
Kafeero yabalabudde nti beewale okuyingiza abaana mu nkaayana zaabwe kubanga tezibakwatako.
Related Articles
No Comment