Aba SEATINI banjudde enteekateeka okuyambako Gav't okusolooza emisolo
May 16, 2025
AB'EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyenfuna n'ebyobusuubuzi mu ggwanga ekya SEATINI banjudde enteekateeka egenda okuyambako gavumenti n'ekitongole kya URA okwongera ku bungi bw'emisolo egiggyibwa mu bantu.

NewVision Reporter
@NewVision
AB'EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyenfuna n'ebyobusuubuzi mu ggwanga ekya SEATINI banjudde enteekateeka egenda okuyambako gavumenti n'ekitongole kya URA okwongera ku bungi bw'emisolo egiggyibwa mu bantu.
Enteekateeka etongozeddwa etumiddwa "STRIDE " nga bagenda kusooka kukolagana na distulikitti 5 okuli ebibuga ne munisipaali okwetoloola eggwanga nga ku zino kwe kuli; Nakasongola, Kassanda , Napak , Nakapiripirit , Isingiro , Mityana , Moroto ,Bushenyi-Ishaka n'ebirala .
Bwe yabadde atongoza enteekateeka eno ng'asinziira mu lukung'aana olwatuuziddwa ku Golf Course Hotel mu Kampala, omubaka owa Ntebe Municipality, Micheal Kakembo yategeezezza nti gavumenti efiirizibwa ssente mu misolo ezisoba mu tuliriyooni 13 buli mwaka zino ziggweera mu buli bw'enguzi.
Kakembo agamba nti abandi babadde bazisasula obutereevu ku misolo ate baziwaayo ku buli bwanguzi bansonyiyibwe so nga n'abamu ku bayinvesita abamanyi ate basonyiyibwa emisolo ekintu ekyongedde okuttattana ennyo enkola y'emirimu.
Akulira ekibiina kya SEATINI, Jane Nalunga yagambye nti mu nkola empya etongozeddwa, basuubira nti gavumenti okufiirizibwa ssente z'emisolo kyakufuuka lufumo anti bagenda kunnyikiza okusomesa abantu emigaso gy'okuwa emisolo, okubannyonnyola ssente zaabwe ze basasulamu emisolo bye zikozesebwa n'okwongera obukugu mu basolooza b'emisolo ku munisipaali bamanye enkola y'emirimu entuufu .
Abamu ku bakungu abeetabye mu kutongoza enteekateeka empya ey'okwongera ku bungi bw'emisolo eya STRIDE mu Kampala
Mu lukungana luno era baayanjuliddemu lipooti eyalaze nti ssente z'emisolo ezikung'aanyizibwa mu bannansi zongedde okukendeera nga be bayogeddeko nabo obuzibu babutadde ku bannansi okwemulugunya nti bazze nga basasula emisolo kyokka ne batatuusibwako buweereza ekyabaviirako nabo okwekyawa.
Omukugu mu byemisolo, Obed Atuhaire yawadde gavumenti amagezi nti esaanide okukendeeza ku bungi bw'emisolo egibinikibwa abantu.
Omukungu okuva mu URA, Ronald Nyenje yattaanyizza nti okukendeera kwa ssente okuva mu bavujjirizi b'obuyambi eri eggwanga kitegeeza kwenyweza na kwongera kutema makubo mapya ag'okwongera okusolooza omusolo okuva mu bannansi.
Okutuuukiriza kino yagambye nti balina enteekateeka ey'okwongera ku misolo egisoloozebwa n'ebitundu 20 ku buli 100 era mu mbeera eno bagenda kwongera ku bungi bw'abakozi baabwe okusobola okutalaaga ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo n'okwongera amaanyi mu nkola eya ' Digital ' eyambako mu kukung'aanya emisolo.
No Comment