Uganda Airlines etandika mu May okugenda e London

Mar 23, 2025

ABAKUGU balaze engeri Uganda gy’egenda okufuna mu ka Uganda Airlines okutandika eng’endo ezigenda obutereevu e Bungereza mu kibuga London ne bagamba nti ebyenfuna bya Bannayuganda byakwongera okukula.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKUGU balaze engeri Uganda gy’egenda okufuna mu ka Uganda Airlines okutandika eng’endo ezigenda obutereevu e Bungereza mu kibuga London ne bagamba nti ebyenfuna bya Bannayuganda byakwongera okukula.
Okutandika ne May 18, 2025, ekitongole kya Uganda Airlines kyakussaawo ennyonyi esaabaza abantu n’ebyamaguzi mu ng’endo 4 buli wiiki, okuva ku kisaawe e Ntebe  okugenda e Gatwick ekisangibwa mu kibuga London ekya Bungereza.
Enteekateeka eno yatongozeddwa ku Sheraton Hotel mu Kampala ku Lwokuna, ku mukolo ogwetabiddwaako omubaka wa Bungereza mu Uganda, Lisa  Cheney.
Cheney yagambye nti Uganda okussaawo ennyonyi n’etuuka butereevu e Bungereza, kyakutumbula ebyobusuubuzi, obulambuzi n’enkolagana wakati w’amawanga gombi. Kati olugendo luno lugenda kutwala essaawa 9 zokka okuva e Ntebe okutuuka e London.
Munnabyanfuna John Kakungulu  Walugembe, yagambye nti balambuzi abava mu Bulaaya baakweyongera kuba entambula egenda kwanguwa. Abalambuzi buli lwe bajja, baleeta ssente mu ggwanga okuyita mu kusasula, ebyokulya, entambula, n’ebirala bannansi ne bafunamu.
Ne Bannayuganda abali e Bulaaya nabo kyakubanguyira okukomangawo awaka, kuba olugendo lwakukendeera ebbeeyi.
Ate omukugu mu byobusuubuzi mu kitongole kya ‘The Southern and Eastern Africa
Trade Information and Negotiations Institute (SEATINI ), Aloysius Kittengo yagambye
nti ebyamaguzi bya Bannayuganda byakutuuka mu bwangu e Bungereza, kiwe omukisa
n’abasuubuzi abatunda ebintu ebifa amangu obutafiirwa.
Bannayuganda abali e Bungereza nabo baakwanguyirwa okusuubula ebintu mu Uganda
naddala emmere, kuba olugitumya, mu ssaawa ntono ebeera etuuse.
Kittengo era agamba nti guno mukisa eri Uganda okutumbula ebyobuwangwa byaffe n’ebintu ebirala bye tukola, okugeza emmere, ennyimba, emisono, n’ebirala kuba tufunye ennyonyi eyaffe kwe tusobola okubyoleseza eri abatambuze.
 eniffer Bamuturaki, akuliram Uganda Airlines yagambye nti ebyamaguzi Uganda by’etunda e Bungereza bigenda kweyongera, Bannayuganda basobole okuyingiza ku kasente akategeerekeka

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});