Akunze abantu okulima ppamba

May 16, 2025

EYALI Minisita mu Bwakabaka bwa Buganda, Al-hajji Kaddu iberu akunze abantu b’omu Buganda okujjumbira okulima  ppamba n’agamba nti tebajjam kwejjusa.

NewVision Reporter
@NewVision

EYALI Minisita mu Bwakabaka bwa Buganda, Al-hajji Kaddu iberu akunze abantu b’omu Buganda okujjumbira okulima  ppamba n’agamba nti tebajjam kwejjusa.
Kiberu era nga yaliko ssentebe w’ekibiina omwegattira Bannamakolero ekya Uganda Manufacture’s Association bino yabyogedde mu kulambula abalimi ba ppamba e Ngando mu Butambala n’e Jjalamba mu Mawokota gye yabadde ng’annyikiza ekirime kya ppamba n’awa abalimi amagezi nti bwe bongereza ppamba ku kirime ky’emmwaanyi ekiriwo awo bajja kuba ku mulamwa gwennyini.
Abalimi ba ppamba, abawadde amagezi okuba n’obuvumu nga beewaayo okulima ekirime kino okusobola okufunamu kubanga akatale weekali nga ne gwe bazze balima yenna ng’abagulibwako. Ate era abasabye okugoberera ennima ey‘ebirime ebirala nga beewala okulekamu omuddo kubanga buli bwe guvuganya n’ebirime weesanga ng’amakungula matono ddala.
Abamu ku balimi abaalambuddwa baategeezezza nti, okubalambula kibongedde amaanyi okuddamu okulima ppamba era ng’ensobi ezizze zikolebwa nga balima basobodde okuzikendeeza era omwaka guno basuubira kinene.
Ku kyomusana okubataataaganya, basabye gavumenti ebakwasizeeko n’ebyuma ng’eyongereza ku minisita bye yabawa. Oluvannyuma abalimi abaakungula
ppamba baamukung’aanyizza ne bamupima ne basasulwa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});