Basse owa difensi ne bamubbako boda boda

May 16, 2025

POLIISI eyigga abazigu abaapangisizza owa difensi ku kyalo e Mbuya ne bamufumita akambe mu lubuto ne bamutta ne batwala pikipiki ye.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI eyigga abazigu abaapangisizza owa difensi ku kyalo e Mbuya ne bamufumita akambe mu lubuto ne bamutta ne batwala pikipiki ye.

Eyattiddwa ye Bosco Wafula 42, abadde difensi wa Kaggo zzooni e Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa. Wafula abadde avuga boda boda ku siteegi esangibwa okumpi n’ekisaawe kya Rugby e Lugogo.

Kigambibwa eyamupangisizza we yamuggye n’amugamba amutwale mu bitundu
by’e Kyambogo, ng’eno gye yamuttidde ne pikipiki ye nnamba UBG 715G n’agitwala.
Muganda wa Wafula nga ye Robert Muzeeyi yagambye nti, waliwo eyabakubidde essimu
ku ssaawa 9:00 mu kiro ekyakeesa olwa Mmande nga yeeyambisa essimu ya Wafula n’abategeeza nga nnyini ssimu bw’attiddwa.

Baagenze e Kyambogo mu kifo ekimanyiddwa nga Kinyarwanda era okutuukawo nga poliisi omulambo egututte e Mulago.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti omusango gw’obutemu gwaloopeddwa ku poliisi y’e Ntinda era bayigga omutemu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});