Kyaddaaki Gashumba awasizza

May 16, 2025

FRANK Gashumba yeevuddemu ng’atuga omulalu n’afunza omuwala Patience Mutoni Malaika n’amwanjula mu bakadde.

NewVision Reporter
@NewVision

FRANK Gashumba yeevuddemu ng’atuga omulalu n’afunza omuwala Patience Mutoni Malaika n’amwanjula mu bakadde.
Patience y’agenda okumuwonya okusuliriranga ekikomando ky’abadde asulirira okumala ebbanga.
Eggulo, Gashumba yakubye akavvulu bonna ababadde bamuyeeya nti tayinza kuwasa, bw’alina embeera enzibu ezitasobola mukyala n’agenda ku kyalo Bwamuseega mu muluka gw’e Lubaale mu ggombolola y’e Kyeera e Lwemiyaga mu disitulikiti y’e Ssembabule mu maka ga ssentebeb w’eggombolola eyo, Frank Basaaza gye yafunye embooko ya mwanamuwala Mutoni.
Ekibinja ekyabaddeko abako abambadde eby’abavandimwe n’engeri endala, baatuuse ku kyalo mu kalasamayanzi ne beeteekateeka okulumba ng’enjogera bw’eri.
Yabadde awerekeddwaako abantu bangi okwabadde n’abanene okuli; Dr. Lawrence Muganga omumyuka wa Cansala wa Victoria University era eyakoze nga kalabaalaba we.
Abalala abaabadde ku mukolo ye Brig. Christopher Ddamulira, akulira ekitongole kya poliisi ekikessi. Pasita Aloysious Bugingo, minisita Lilian Aber, omuli wa ssente Abryanz.
Mu kukuba abantu akavvulu, Gashumba yabeetegekedde ng’alinga agamba nti, abatemi b’omugambo abeesookeyo era mu ngeri eno, olwamaze okutuuka ku mukolo, teyalinze bagumusalako na basaasaanya bufaananyi butateredde n’afulumya ebifaananyi bye ng’ali n’omugole.
Wano abawolokosa we baatandikidde nga bw’awonye obuwuulu, era nti nga bwe yeevuddemu obwevi, nti nga bwe bamusuubira okukendeeza ku bingi omuli n’okwogera ennyo kubanga kati mufumbo awedde emirimu n’ebirala ebitasobola kwogerwa wano.
Yatutte ebintu ebigya mu bazadde abazaala Patience omuwala eyalabise nga mukkakkamu ate alina eddiini, omuwanvu, ow’akatakketakke atemera mu myaka nga 30. Gashumba ali mu myaka 50. Gashumba yayawukana ne mukyala we omukulu azaala muwala we Sheila Gashumba, omu ku bali ba ssente mu Kampala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});