St Noa SS ekyabinuka masejjere mu z'abawala
May 15, 2025
ST NOAH Girls SS ery'e Zzana ku luguudo lw'e Ntebe mu disitulikiti y'e Wakisolyavudde e Bukedea mu buvanjuba bw'eggwanga nga liri mu bire.

NewVision Reporter
@NewVision
St Noah 1 (5) Amus 1 (3)
Ekyokusatu;
Boni Consili 1 (5) Kawempe 1 (4)
ST NOAH Girls SS ery'e Zzana ku luguudo lw'e Ntebe mu disitulikiti y'e Wakiso
lyavudde e Bukedea mu buvanjuba bw'eggwanga nga liri mu bire.
Kino kyaddiridde okusitukira mu kikopo ky'omupiira gw'abawala ogw'ebigere
eky'amasomero g'eggwanga lyonna, bwe lyakubye Amus College ery'e Bukedea.
Fayinolo yanyumidde ku Bukedea Comprehensive School mu Teso ku Lwokubiri nga yaggweeredde mu peneti oluvannyuma lw'amaliri ga ggoolo 1-1.
Ku kifo ekyokusatu, Boni Consili Girls School ery'omu disitulikiti y'e Rubiriizi lyawangudde Kawempe Muslim SS ery'e Kampala nalyo mu peneti nga nabo baasoose
kulemagana ggoolo 1-1. Empaka ziyindidde ennaku 10
No Comment