Bajeti empya ekuwa ate n’ekuggyako

May 16, 2025

Bajeti empya ekuwa ate n’ekuggyako

NewVision Reporter
@NewVision

Nga Palamenti eyisa bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2025/2026 ey'obuwumbi 72,000 abakugu balaze ebyetaaga okutereezebwa.
Mu bajeti eno egenda kutandika okukola nga July 1, 2025, Gavumenti esuubira okukung’anya obuwumbi 37,000 okuva mu misolo okusobola okugiyimirizaawo.
Wadde nga minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi,agamba tewali musolo  upya gwaleeteddwa kyokka waliwo emisolo egyalinnyisiddwa.
Omwenge gwa bbiya gwayongezeddwaako omusolo okuva ku 650/- okutuuka ku 900/- buli liita. Abakugu bagamba kino kyandiviirako emiwendo okutundirwa bbiya okwongezebwa kumpi  ebitundu 40 ku 100. Abanywabbiya bayinza okukendeera ne Gavumenti n’efundikira ng’ekung’anyizza omusolo mutono
okusinga bwe yasuubira.
Sigala akolebwa munda mu ggwanga ateereddwako omusolo gwa sh.10,000 ku buli paketi 50 ezifulumizibwa. Kkampuni za zzaala zaateereddwaako enkola
nga balina okugereka n’okusasula ssente nga bayita mu Bbanka Enkulu.
Kyasaliddwawo ng’ennamba eweebwa buli muntu eya NIN eteekebwa ku densite y’eggwanga bwegenda okusikira eya NIN mu kukola bizinensi. Kino kikoleddwa okwongera ku bungi bw’abantu abawa omusolo.
Kyokka Bannayuganda abatandika bizinensi ezeewandiisa mu mateeka nga tezisussa bukadde 500 zigenda kuweebwa ekisonyiwo ky’obutasasula musolo okumala emyaka esatu. Kkampuni oba ekitongole birina okuba nga bisasula bulungi omusolo.
ABAKUGU KYE BAGAMBA
Muhammad Ssempijja, akulira eby’emisolo mu kitongole kya Earnest and Young yagambye nti ekizibu ekyamaanyi ekya bantu abatono okubabinika omusolo
tekyasaliddwa magezi.
Wadde nga Gavumenti egenda kukozesa NIN nnamba okugereka, kyokka obuzibu abantu abasinga banneekolera gyange era bizinensi zaabwe teziwandiisibwa wantu
wonna.
Ssempijja agamba omwaka gw’ebyensimbi gwe tulimu, Gavumenti byali yeewadde ekkatala lya kukung’anya obuwumbi 34,000 ezaagiremye ate talaba nsonga lwaki baazongezza ne beeteeka ku ddimu ly’okukung’anya obuwumbiamagezi
 esooke ekole ku kizibu ky’ensaasaanya nga tennalowooza ku kya kwongeza misolo kuba ssente ezisinga we zigendera.
Kyokka yasanyukidde ekisonyiwo ky’emyaka esatu eri bizinensi za Bannayuganda ezitandika nga tezisussa bukadde 500 n’agamba nti kyakuyambako nnyo. Kyokka
emyaka gino yasabye nti gyandibadde gyongezebwa okutuuka ku myaka 10 nga tebawa misolo okufaanaganako n’eza bamusigansimbi eziva ebweru.
Habert Kafeero okuva mu kitongole kya SEATIN ekirondoola ebyemisolo agamba nti
embeera egenda kweyongera kubeera nzibu, kubanga obuyambi
obuva ebweru bukendedde, ebyokusaasaanyaako ssente byeyongedde ate nga tewali
mpenda zitemeddwa kwongera kuzikung'aanya.
Agamba nti ekinaddako kujja kuba kwewola ku Bannayuganda bennyini obuwumbi obuli eyo mu 11,000 okuva ku 4,000 ezaali zibaliriddwa. Kino kitegeeza kukendeeza
ssente mu bantu kubanga Gavumeti erwawo okusasula.
ENGERI EBITONGOLE GYE BIGENDA OKUGABANA SSENTE
Minisitule y’emirimu n’ebyenguudo egenda kufuna obuwumbi 5000 era nga ye yasinze
okufuna ssente n’eddirirwaMinisitule y’ebyokwerinda eyafunye obuwumbi 2000.
Minisitule y’ebyempuliziganya ne tekinologiya - obuwumbi 191, Minisitule ya Kampala
n’emiriraano obuwumbi 1,177.
Ekitongole ekikola ku balwadde ba kkookolo ekya Uganda Cancer Institute- obuwumbi
91, ekivunaanyizibwa ku balwadde b’emitima ekya Uganda Heart Institute-obuwumbi
48. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira
n’okufuluma eggwanga ekya National Citizenship and Immigration Control kyafunye
obuwumbi 168.
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority obuwumbi 491. Ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kyaweereddwa obuwumbi 136. Ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti- obuwumbi 75, Ekifo we bakeberera endagabutonde ekya Gavernment Analytical
Labaroatory e Wandegey   obuwumbi 16. Ekitongole
 kivunaanyizibwa ku kufulumya densite z’eggwanga ekya
 National Identification and Registration Authority (NIRA)  obuwumbi 239. Ekitongole
ekiwooza ky’omusolo ekya URA - obuwumbi 711.
Ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics - obuwumbi 114, Makerere University-obuwumbi 52, Mulago National Referral
Hospital - obuwumbi 103, Butabika Hospital - obuwumbi 18, Masaka Regional Referral
Hospital-obuwumbi 13, Hoima Regional Referral Hospital- obuwumbi 13.
Jinja Regional Referral Hospital-obuwumbi 18, Mbale Regional Referral Hospital-obuwumbi 16, Soroti Regional Referral Hospital-obuwumbi 9, Mbarara Regional Referral Hospitalobuwumbi 18, Mubende Regional Referral Hospital- obuwumbi 12,
 Naguru Regional Referral Hospital- obuwumbi 14. Kiruddu Referral Hospitalobuwumbi 27, Kawempe Referral Hospital - obuwumbi 26, Entebbe Regional Referral Hospital - obuwumbi 17, Mulago specialized Women and Neonatal Hospital - obuwumbi 30 ne Kayunga Rereferral Hospital - obuwumbi 14

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});