Ab’e Zzinga basabye essomero lya siniya

May 13, 2025

Abasiraamu ab’omu bitundu eby’e Zzinga ku byalo okuli Makanaga, Buganga, Kaapa, Kojja - Chance, Balalaba, Kibamba, Kaccanga, Lwazi balombozze okusoomooza kwe basanga kye bagamba nti kitaataaganyizza enkulaakulana  ’ekitundu kyabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

Abasiraamu ab’omu bitundu eby’e Zzinga ku byalo okuli Makanaga, Buganga, Kaapa, Kojja - Chance, Balalaba, Kibamba, Kaccanga, Lwazi balombozze okusoomooza kwe basanga kye bagamba nti kitaataaganyizza enkulaakulana  ’ekitundu kyabwe.
Bagamba nti balinga abalekebwa emabega mu nsonga z’ebyenkulaakulana kuba bali wala n’olukalu. Baabibuulidde ssentebe wa disitulikiti w’e Wakiso, Matia
Lwanga Bwanika oluvannyuma lw’okusaala juma wiiki ewedde ku Masjid Madina e Makanaga ne bamunnyonnyola nti emizikiti mwe basaalira gyonna bwe giri mu
mbeera embi ddala nga n’egimu empewo ey’oku mazzi egisuula. Omulangira Twaib Ssimbwa yansizidde wano n’ategeeza nti omuwendo gw’abaana abawanduka mu masomero gususse obunene era abamu bakoma mu pulayimale olw’okukaluubiribwa eng’endo okugenda okusoma siniya.
Ekizinga ky’e Zzinga kyonna tekirina ssomero lya siniya ng’abaana abamalako pulayimale, balina kusomoka kugenda ku kizinga eky’e Bussi okusoma. John Mugisha, ssentebe w’e Makanaga yalaze nti abataka abeerula ettaka lyabwe kimu ku bibasoomooza naddala nga balemeddwa  okugabana olwo ne beekwasa ekkanzu ezitabaweebwa.
Ssentebe Bwanika mu kwogerako nabo yabagambye nti tasobola kumalawo bibasoomooza ye nga omuntu wabula n’abasuubiza okubafunira bannamikago abayinza okubayambako olwo ebyalo byabwe bisobole okukulaakulana

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});