ABANTU babiri abagambibwa okubeera amabega w'obubbi bw'emmotoka mu Kampala, Wakiso ne Mukono, bakwatiddwa.
May 14, 2025
ABANTU babiri abagambibwa okubeera amabega w'obubbi bw'emmotoka mu Kampala, Wakiso ne Mukono, bakwatiddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU babiri abagambibwa okubeera amabega w'obubbi bw'emmotoka mu Kampala, Wakiso ne Mukono, bakwatiddwa.
Waliwo omulala makanika agambibwa okukulira ekibinja kino Joseph Lwanyanga , eyadduse era nga mu kiseera kino, bamuyigga.
Okukwatibwa kw'abantu bano, kidiridde ababbi okugenda e Bukasa e Wakiso ku Lwomukaaga, ne banyaga emmotoka bbiri okuli RAV4 UAL 130P n'endala Toyota Harrier nnamba UBR 645 J ne bazibuzaawo kyokka oluvannyuma ab'ekitongole kya Flying Squad ne bazisanga ku SS Bar and Gardens e Mukono .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti okunoonyereza nga beyambisa CCTV Camera, bakizudde nga Lwanyaga y'ali amabega w'obunyazi buno era ng'ali ku kakalu ka poliisi ku misango gy'egimu egy'obubbi bw'emmotoka. mu kiseera kino bamuyigga.
No Comment