Aba ISO bawangudde empaka z'okwolesa obukodyo bw'ekijaasi
May 13, 2025
EKITONGOLE ky’amaggye ekikessi ekya ISO kye kiwangudde mu mpaka z’ebibinja by’amagye eby’enjawulo ebyetebya mu kwolesa obukodyo bw’ebyokwerinda kye baatuumye CDF Interforce Drill Competition 2025 eziyindidde ku kisaawe e Kololo.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITONGOLE ky’amaggye ekikessi ekya ISO kye kiwangudde mu mpaka z’ebibinja by’amagye eby’enjawulo ebyetebya mu kwolesa obukodyo bw’ebyokwerinda kye baatuumye CDF Interforce Drill Competition 2025 eziyindidde ku kisaawe e Kololo.
Gen.Muhoozi ng'ayogera
Ebibinja by’amaggye 8, byebivuganyizza mu mpaka zino okuli ekibinja ky’eggye ly’omubbanga (airforce), bakkomando ab’eggye erikuuma pulezidenti (SFC), ekitongole ekikessi ekya (ISO), ekibiinja eky’okubiri, eky’okutaano, eky’okusatu n’ekibinja ky’abakyala bannamaggye.
ISO kyekisinze mu byonna, Gen. Muhoozi abakwasizza ekikopo ne cheeke ya bukadde 10, aba SFC ne bakwata eky’okubiri nabo ne bafuna ekikopo ne cheeke n’obukadde 5 nga n’abalala abasinze mu mitendera egy’enjawulo bafunye ebirabo.
Omugagga Johnbosco Muwonge naye abaddewo nnyo
Yeebazizza pulezidenti Museveni gw'agambye nti omutindo gw’eggye lya UPDF musingi gweyatandika era n’agumya bannamaggye nti enteekateeka ey’okutumbula embeera zaabwe omuli; ensula yaabwe,eby’entambula, eby’obulamu, ensomesa y’abaana baabwe ziteereddwa nnyo ku mwanjo.
Chairman Toyoyta naye abaddewo nnyo
Abantu ab’enjawulo okuli bannabyabufuzi, abakungu ba gavumenti, ab’ebyokwerinda ssaako bannabizinensi okubadde ne mukwano gwa CDF omugagga w’Omukampala Bosco Muwonge.
Related Articles
No Comment