Ab’e Namugongo bakaaba lwa babbi
May 13, 2025
ABATUUZE b'e Namugongo ku byalo okuli Namugongo - Nsawo ne Namugongo - Janda mu Divizoni y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira bakaaba olw’ababbi ababasuza ku tebuukye.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE b'e Namugongo ku byalo okuli Namugongo - Nsawo ne Namugongo - Janda mu Divizoni y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira bakaaba olw’ababbi ababasuza ku tebuukye.
Ababbi babayingirira mu mayumba n’okubateega mu makubo ne bababba n'okubatema. Akyasembyeyo okutuusibwako obulumbaganyi yategeerekeseeko erya Jolly ng’abadde
ajenti wa Mobile Money ku Kabu Supermarket.
Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande, ababbi abaabadde batambulira
ku bodaboda bbiri bwe baamulondodde ne bamutema ebijambiya ne bamubbako ssente zonna ze yabadde nazo.
Ssentebe w’ekyalo, Michael Ssendawula Ssendikadiwa yasabye poliisi okuddamu okukola ebikwekweto nga bye yakola gye buvuddeko mwe yakwatirabuno bwabaddewo ku ssaawa 1.00 ey’akawungeezi ng’abantu bakyatambula, ababbi nga mukaaga
abaabadde ku bodaboda ez’enjawulo bwe baasazeeko bodaboda, Jolly kwe yabadde
atambulira ne bamutema n’okumukuba ne bamubbako ssente ne bagenda.
Amajambiya baabadde bagtambuliza mu bijaketi. Mu kiro kye kimu, abazigu baalumbye essomero lya Gavumenti erya Namugongo Mixed P/S ne basala
akatimba k'olukomera ne bakuuliita nako.
Nga March, 9, 2025 abazigu baalumba abatuuze b’omu Nsawo ne batema bataano okwali; Baraka Benjamin, 25, omuyizi ku yunivasite, Evelyn Nsimire ne Max Mujuni ng’ono yatemebwa bwe yali agezaako okutaakiriza muganzi we Benah Alemu.
Omwogezi, wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza ng’abazigu bano bwe bakyanoonyerezebwako babakwate. abamenyi b’amateeka abawera. Kigambibwa nti omusajja eyabadde agezaako okutaasa Jolly naye baamukkakkanyeeko ne bamukuba ne babulawo. Ssendawula yategeezezza nti ekyewuunyisa obulumbaganyi
No Comment