Omugagga agambibwa okusengula ab’e Jjanda yeewozezzaako

May 13, 2025

Omugagga agambibwa okusengula ab’e Jjanda yeewozezzaako OMUGAGGA Ahmad Ssemuwemba Ssentongo, 64, agambibwa okusengula abatuuzeb’e Jjanda ku ttaka ategeezezza nti buli kimu yakikolera mu mateeka oluvannyumalw’okubasasula

NewVision Reporter
@NewVision

OMUGAGGA Ahmad Ssemuwemba Ssentongo, 64, agambibwa okusengula abatuuze
b’e Jjanda ku ttaka ategeezezza nti buli kimu yakikolera mu mateeka oluvannyuma
lw’okubasasula.

Kiddiridde akakiiko mu ofiisi ya Pulezidenti akagonjoola  emivuyo gy’ettaka akakulirwa Gen. Moses Lukyamuzi okutuuza olukiiko wiiki ewedde ne bawa
ekiragiro Ssemuwemba asigaze yiika ssatu zokka ku ttaka lino eriweza yiika 22.6.
Ssemuwemba, yategeezezza nti, ettaka lino lyagulibwa omugenzi Yosam Sserwanga
n’afuna ekyapa okuva ku nnannyini ttaka Yofesi Walusimbi Mpanga mu 1960.
Agamba nti abaana b’omugenzi Yosam Sserwanga okuli; Emmanuel Busulwa, Mariam Nababi ne Erios Nassimbwa baamutuukirira abakolere ku byapa ne bakola endagaano bafulumye ebyapa 2 okuli; bbulooko 56, poloti 56 ne poloti 43 ku kyalo Jjanda n’endala bbulooko 55 poloti 12 ku kyalo Konko nga baalina okumuwaako yiika 6.

Wabula nga batambuza omulimu, baakola ekyapa kimu ekya ‘Special Tittle’ bbulooko 55 ne poloti 12 eky’e Konko ekyokka eky’e Jjanda kyabalema kuba nnamwandu wa Walusimbi,
Solome Nalwoga yali atadde envumbo ku kyapa ng’awaabye mu kkooti ku fayiro nnamba 554/1989. Namwandu yasaba kkooti ekyapa kifulumire mu mannya g’abaana be okuli; Richard Kimeze, Alga E Kimuli, Daphine Brenda Nangendo
n’eyategeerekeseeko erya James.
Bwe yazuula omuziziko guno kwe kugula abaalinako ebibanja n’abamu mu baana
b’omugenzi. Ku yiika 22 alinako munaana era azikolerako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});