Omusiguze asse muk'omusajja
May 13, 2025
POLIISI ye Wakiso eri ku muyiggo gw’omusiguze eyasse muk’omusajja mubukambwe oluvannyuma lw’okukitegeerako nti abadde agenda kuddayo mu bufumbo ne bba eyamuzaalamu abaana.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI ye Wakiso eri ku muyiggo gw’omusiguze eyasse muk’omusajja mubukambwe oluvannyuma lw’okukitegeerako nti abadde agenda kuddayo mu bufumbo ne bba eyamuzaalamu abaana.
Hakim Mugisha omufumbi ku ssomero lya AY Elementary School e Wakiso yeyatemudde muganzi we Shifah Nangobi metulooni ku ssomero limu oluvannyuma lw’okumulaba ne bba ku kyalo nga bapanga kuddamu kukola maka.
Ettemu lino libaddewo leero ku kyalo Gombe mu disitulikiti ye Wakiso, era nga lyakoleddwa mu kazigo akaapangisibwa okumpi n’essomero nga kano Mugisha kaabadde asulamu.

Abantu nga bakung'aanye awabadde ettemu
Kigambibwa nti olusoma lwa ttaamu esooka nga luwedde, Nangobi yaddayo ewaabwe mukyalo e Kamuli ng’eno gye yakwataganira ne bba eyategerekeseeko erya Ronald n’amusaba baddemu omukwano gwabwe gwabaalimu.
Nti baasimbudde e Kamuli ku Lwokubiri kumakya Nangobi nasaba bba amuwerekereko ku ssomero gyabadde akolera nti ajjeyo ebintu bye olwo beyongereyo gye bagenda okubeera era kino bba nakikkiriza.
Kyokka nti bano bwe baatuuse ku ssomero, baabadde mumukwano omuyitirvu, era Mugisha yabalabye olwo ye nava ku ssomero naddayo mukazigo ke gyasula, nasinziira eyo okuyita Nangobi.
Okusinziira ku difensi w’ekyalo Gombe, Patrick Ssekatawa, yategezezza nti Nangobi bweyagenze mukazigo ka Mugisha, yagenze n’essimu ya bba era ng’amusuubizza nti agenda kudda mangu alina ebintu ebitonotono byakimayo.
Nti bba wa Nangobi yalinze Nangobi nga takomawo, kwekugenda okulaba ekibaddewo, kyokka ono yasanze beggaliddeyo era nasaba Nangobi okumuwa essimu ye abareke mumirembe gyabwe.
Kyokka bwe byaganye, kwekudda ku ssomero ayogere n’omukulu w’essomero era naye eyagenze nakonkona nga tebaggulawo olwo nebasala amagezi ag’okuyita ab’akakiiko k’ekyalo balabe ekiddako.
“Nze bankubidde nti waliwo omutuuze eyegalidde mu nnyumba n’essimu y abba, era bwentuuse nenkonkona nga tewali aggulawo, era kwekusalawo tuggulewo oluggyi, kyokka tugudde ku mulambo gwa mutuuze waffe nga gugalamidde wansi mu kazigo.” Sekatawa bweyayongeddeko.

Omu ku batuuze ataayagadde ku mwatukiriza mannya yagambye nti Nangobi yali yalaga dda Mugisha nti ayinza obutaddamu kukola ku ssomero nti agenda kudda mubufumbo, kyokka nti kirabika Mugisha pbyamugwa mumatu naye kwekusalawo akole ekikolwa kino.
Kkansala omukyala akikirira Wakiso Town Council ku disitulikiti, Shakirah Nacwa Kakungulu yennyamidde olw’ekikolwa ekyaagudde mukitundu kye, nasaba abatuuze okukoma ku busungu kuba oluusi bubaretera okukola ebintu ate nebejjusa.
Yagambye nti ekikolwa kino tekiba ngawo nti kyokka bagenda kulaba nga bategeka emisomo naddala mubafumbo, okubalaga bwebayinza okwewala obwenzi, oba oli awo n’ebikolwa ebiyinza okutwala obulamu bwabwe.
Difensi Sekatawa yakubidde poliisi ye Wakiso era DPC Esther Kizza nagenda ne kabangali eyajjeyo omulambo okugutwala e Mulago. Kyokka DPC Kizza yatuuse ku ssomero ng’abasomesa n’omukulu w’essomero ssaako bba wa Nangobi nga badduse dda ng’ekifo kikalu.
Kizza yategezezza nti mukiseera kino bali mukunonyereza okulaba nga bafuuza Mugisha n’abakulu ku ssomero gyebali, babeeko bye bategeeza poliisi mukunonyereza, nalwaki kino olwaabaluseewo ate bbo nebadduka.
Nangobi agenda kuziikibwa mu disitulikiti ye Kamuli era ng’ono alese abaana 2 baabadde yareka mukyalo nga yabajjeyo oluvannyuma lw’okusalawo okuddamu okubeera ne bba mubufumbo.
Related Articles
No Comment