Omusango gwa Nambi gutandise n’atamattama obujulizi
May 14, 2025
OMUSANGO Munna NRM, Faridah Nambi gwe yawawaabira munnamateeka Elias Nalukoola nti yamubba akalulu ka Kawempe North gutandise n’atamattama obujulizi bwe.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSANGO Munna NRM, Faridah Nambi gwe yawawaabira munnamateeka Elias Nalukoola nti yamubba akalulu ka Kawempe North gutandise n’atamattama obujulizi bwe.
Nambi ye yasoose okuwa obujulizi balooya ne bamukunya okubugeraageranya ku bwe yassa mu kkooti n’agamba nti obumu baamugamba bugambe teyaliiwo. Okuwa obujulizi buno, yabadde mu maaso g’omulamuzi Bernard Namanya owa Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’engassi, bannamateeka ba Nalukoola abaakulembeddwa Mohammed Mbabazi ne bamukunya n’atuuka n’okuggyayo kaliculeeta abale obululu bwe yafuna okulaba oba bwali bumusobozesa okuwangula.
Baagenze okubugatta nga tebuwera muwendo guyinza kumuwanguza kalulu ako wabula
ye n’alemerako nti yandiwangudde singa obululu bwonna bwabalibwa. Mu bujulizi bwe, agamba ebifo 14 mu bitundu by’e Kazo Angola n’e Mbogo e Kawempe North tebwabalibwa ate nga mu bifo ebyo
yali alinawo obuwagizi bungi ng’era
we yalondera.
Yabuuziddwa oba abalonzi bonna baali bagenda kulonda n’agamba nti bandironze abalala naye ye yalinawo obuwagizi bungi. Era yagambye nti obululu okuva mu bifo 14 obutaabalibwa bwamukosa nnyo mu kalulu ako.
Ng’akunyizibwa okuva ewa munnamateeka wa Nalukoola omulala, Samuel Muyizzi Mulindwa, Nambi yagambye nti bwe yamala okulonda yavaawo wabula yategeezebwa ba agenti be okuli Herbert Kalemba, Sarah Namatovu, Maurisha Ninsiima, Deogratious
Mpanga ne Gordon Saleh nti obululu n’ebikozesebwa mu kulonda byayonoonebwa ku kifo awalondebwa ewa Mbogo.
Yabuuziddwa oba yaweebwa lipooti ku mivuyo egyali mu bifo ebyo n’agamba tayinza kukiddamu. Wabula ku nsonga y’obujulizi Nambi bwe yawadde nga bwamugambibwa bugambabibwa, bannamateeka ba Nalukoola baabuwakanyizza nga bagamba nti abantu abo bandireeteddwa ne bakakasa bye bagamba kuba tebayinza kwesigama ku bigambo
ate nga kkooti yagaana abajulizi abo okukunyizibwa mu kkooti.
Wano omulamuzi Namanya yagambye ensonga zonna ajja kuziwaako ensala bw’anaaba
awa ensala yonna ey’omusango. Gwakuddamu n’olwaleero mu kkooti y’emu.
No Comment