Emperor Orlandoh tumuleeseEmperor tumuleese
May 14, 2025
OMUYIMBI Emperor Orlandoh eyayimba akayimba aka ‘Sirika Baby’ n’omugenzi Menton Summer mu myaka gy’e 90, temulowooza nti eby’okuyimba yabivaako kuba yakoze ‘alubaamu’ empya era ategese n’ekivvulu. Amannya ge amatuufu ye John Ssozi nga kati awangaalira mu Canada ng’era abamu ku bayimbi abalala bwe baddukira ku kyeyo naddala mu Amerika.

NewVision Reporter
@NewVision

Orlandoh, mu Canada gy’ali, gy’ategekedde ekivvulu ku Lwomukaaga ky’atuumye ‘Orlandoh Experience 2nd Edition’ nga kyakubeera mu Toronto. Omu ku bateesiteesi, Remmy Ntambi yamuwaanye nti kati akikuba era asuubira abantu bangi okuva mu Canada n’ebweru waayo era nga kino kye kimu ku bivvulu by’abayimbi Abaddugavu ebisinga obunene mu Canada.
Yayongeddeko nti baakubeera n’abayimbi okuli; Gen. Mega Dee, Julie Ssesanga ne ba DJ ab’akabi.
“Kino kigenda kusukka ku muyimbi okuyimba ennyimba ezinyuma wabula n’okujaguza ennyimba zaffe eza Bannayuganda,” Remmy Ntambi bwe yategeezezza.
Emperor Orlandoh yayimba ennyimbaendala okuli; Maama ka mmuwe lwe yayimba ne Jose Chameleone, Si nsonga, Nsonyiwa Orlandoh lwe yayimba ne ne Saidah Kalooli, Nnina Akaama ko, N’akonkona n’endala ezinyumira abadigize.
No Comment