Lukwago akunyizza abakola enguudo akasoobo

May 15, 2025

LOODI Meeya, Erias Lukwago akunyizza bakontulakita abaaweebwa omulimu gw’okukola enguudo mu minisipaali y’e Kawempe olw’okukola omulimu akasoobo.

NewVision Reporter
@NewVision

LOODI Meeya, Erias Lukwago akunyizza bakontulakita abaaweebwa omulimu gw’okukola enguudo mu minisipaali y’e Kawempe olw’okukola omulimu akasoobo.
Enguudo ze yalambudde kuliko; 34X olusangibwa mu muluka gw’e Kyebando nga kuliko obuwanvu bwa 0.9km, Kisamba Road 0.4km nga ziri mu Kawempe North, ssaako, Mukalazi Road 0.92km ne Muganzirwazza 0.64km ezisangibwa mu Bwaise II mu Kawempe South. Ssente ezikola enguudo zino nga ziwera obuwumbi 26 zeewolebwa okuva mu bbanka y’ensi yonna.
Lukwago yalambudde enguudo zino ku Lwokubiri nga yabadde n’omumyuka we, Doreen Nyanjula, meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi, John Mary Ssebuufu, omumyuka wa meeya e Kawempe, Badru Bakojja n’abalala.
Okusalawo okulambula enguudo zino baabadde bamanyi nti bakontulakita aba kkampuniya ya Multiplex Limited baatandika dda okuzikola, wabula kyababuuseeko bwe baasanze nga tewali wadde ebikozesebwa.
Lukwago yakunyizza yinginiya wa kkampuni eno, Richard Kyobe lwaki tebatandikanga kukola sso nga kontulakiti yabaweebwa nga February 28, 2025 nga balina okuzikolera emyezi 18 gyokka.
Sserunjogi yagambye nti enguudo ezigenda okukolebwa zigenda kubaako ab’ebigere we batambulira, ebitaala, aba boda boda we bavugira.
Kyobe yategeezezza nti kituufu wabaddewo akasoobo olw’ensonga ezitali zimu naye n’akakasa nti nga May 24, 2025 bagenda kuba batandise okukola kuba baamalirizza okwogera n’abatuuze ne bawaayo ebifo byabwe awatali kusasulwa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});