Ab’ekibiina kya PFF batandise okuwandiisa bammemba ne balaga kye bazzaako
May 14, 2025
ABAKULIRA People’s Front for Freedom (PFF) balaze pulaani gye balina mu kalulu ka 2026, bwe balangiridde nti batandise okuwandiika bammemba okuva ku byalo basobole okusimbawo abakulembeze ku buli mutendera.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKULIRA People’s Front for Freedom (PFF) balaze pulaani gye balina mu kalulu ka 2026, bwe balangiridde nti batandise okuwandiika bammemba okuva ku byalo basobole okusimbawo abakulembeze ku buli mutendera.
Baatuuzizza olukiiko lw’abamu u bammemba ku kitebe kyabwe ekisangibwa ku luguudo lwa Katonga ne balangirira nti ekibadde kibasibye kakiiko ka bya kulonda akabadde katannabakakasa naye bwe baafunye ebbaluwa eraga nti buli kimu baakituukirizza kati batandise okukola ebyobufuzi.
Abakulembeze okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuli; Kampala, Busoga, Ankole, Rwenzori, Gulu, Arua, Mbale, Masaka Wakiso, Mukono n’awalala
baabaddewo nga bangi bambadde engoye z’ekibiina eza bbululu.
Akola nga pulezidenti w’ekibiina, Loodi mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago yagambye nti buli mukulembeze wa ddembe okukyusa ekibiina okuyingira ky’ayagala kuba akawaayiro akabadde kabasibye ekiseera kyaweddeko
No Comment