Lukwago alaze essape
May 14, 2025
ABAWAGIZI baakoledde Loodi Mmeeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago akabaga k’amazaalibwa ku nnyanja n’alaga essape.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAGIZI baakoledde Loodi Mmeeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago akabaga k’amazaalibwa ku nnyanja n’alaga essape.
Lukwago yawezezza emyaka 55 ng’akabaga k’okwebaza Katonda olw’emyaka gino kaabadde ku Ddungu Resort Beach e Munyonyo okwabadde okulya n’okucacanca.
Essaawa y’okusala kkeeki bwe yatuuse, Mmeeya n’abawagizi be ne beesogga eryato ne balambula obuzinga obw’anjawulo.
Ng’eryato liri mu nnyanja wakati, lyayimiridde olwo omuloodi ne yagattibwako mukyala we Zawedde Lukwago n’abaana, kkeeke ne bagisalira ku mazzi. Lukwago yeebazizza Katonda okumuwangaaza okutuuka ku myaka 55 n’agamba nti mu bbanga lino Katonda amuweereddemu ebirungi bingi.
No Comment