Museveni agguddewo enguudo Gavumenti z’ekoze e Kasese

May 16, 2025

PULEZIDENTI Museveni agguddewo enguudo eziwemmese obuwumbi 53 mu munisipaali y’e Kasese, Gavumenti z’ezimbye mu pulogulaamu yaayo eya UgandaSupport to Municipal Infrastructure Development (USMID).

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni agguddewo enguudo eziwemmese obuwumbi 53 mu munisipaali y’e Kasese, Gavumenti z’ezimbye mu pulogulaamu yaayo eya Uganda
Support to Municipal Infrastructure Development (USMID).
Enguudo ezaatongozeddwa kuliko:
Rwenzori Road, Bus Circular Road, 3rd Street, Kitalikubi Road, Park Rise, Stanley Road, Margarita Road, Rukidi III-Port Circular, Crescent Road, Mandela Road, Total
Road, Mboghoyabo, ne Lincolin Road ezigenda okuyamba okufuula Kasese ekibuga ekirimu ebyentambula eby’omulembe.
Bwe yabadde eziggulawo, Museveni yagambye nti kano ke kamu ku bubonero obulaga nti Gavumenti ya NRM tekoma kusuubiza, wabula etuukiriza ebisuubizo.
Yagambye nti ng’oggyeeko enguudo, Gavumenti yakoze n’ebintu ebirala nga emyala egy’omulembe, okulekamu ebifo eby’emiti n’ebimuli abantu mwe bayinza
okuwummulira n’okukuuma obutonde, enkola y’okukung’aanya kasasiro ey’omulembe
n’okutendeka abakozi ba Munisipaali n’okuteekawo obukiiko bw’abatuuze obunaakuuma ebintu bino nga tebyonooneddwa.
Yagambye nti ebbanga lyonna NRM ebadde n’ebirowoozo ebikuza Uganda ng’ekigitawaanya kya kulondawo ekirina okusooka okukolebwako, ng’enkola entuufu
yandibadde ya kukola kintu kimu kimu, bwe kiggwa nga tukola ku krala sso si kubiwambagatanya.
N’agamba nti enkola eyo NRM mw’ekoledde ebintu ebya nnaggwanonga okuzimba  eggye lya UPDF n’okulifunira ebikozesebwa kuva mu mbeera gye yasangawo
ng’abajaasi ba Uganda baaliko 8,000 bokka mu kiseera ky’okuva
mu mulembe gwa Idi Amin.
Yasabye abakulembeze okusigala obumu n’okuba n’empisa n’okulondangawo ekisinga okwetaagibwa nga bakola kimu, bwe kiggwa ne bakwata ekirala.
Museveni yawerekeddwaako; omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa, baminisita omwabadde owebyettaka Judith Nabakooba, owa tekinologiya
n’okulung’amya eggwanga Chris Baryomunsi, ababaka ba Palamenti, abakulembeze b’ekitundu abaakulembeddwa meeya wa Kasese, Chance Kahindo, n’abalala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});