Taata w’abaana anobye n’alumiriza omukyala okumukubanga

May 17, 2025

TAATA w’abaana aloopye maama w’abaana be okumukubanga n’agamba nti amukooye nti era omukazi amulemye n’asaba bwe wabaayo omusajja amwegwanyiza, amutwale.

NewVision Reporter
@NewVision

TAATA w’abaana aloopye maama w’abaana be okumukubanga n’agamba nti amukooye nti era omukazi amulemye n’asaba bwe wabaayo omusajja amwegwanyiza, amutwale.
David Nabyuma, 53, y’aloopye mukazi we, Harriet Nabukeera olw’obutamubalaamu ka buntu. Yattottodde nti Nabukeera yeegatta ne muwala we omukulu ne bamukuba, era yalaba taabisobole kwe kusibamu ebyanguwa n’abaviira ne yeepangisiza akazigo.
Bano batuuze ku kyalo Kisombwa mu Kayunga Town Council kati batambuza omwaka gwa 31 mu bufumbo era nga bazadde abaana 5 ng’asembayo wa myaka 18. Nabyuma yagenze ewa Collins Kafeero, ow’amaka e Kayunga amuyambe aggyeyo ebintu bye, omukazi bye yalemera era afune n’omugabo ku bibanja bye yatuuyanira atundeko poloti agende yeeyiiye.
Wabula Nabukeera bwe yayitiddwa okutuula mu lukiiko olwakubiddwa awaka okugonjoola ensonga zino, yagaanyi okulinnyawo. Yasoose kwekweka mu ffumbiro, oluvannyuma ne yeesogga enju gye yasinzidde okuwereeza ebigambo. Yabuuzizza bba lwaki eby’okumukuba abiraba kati n’agamba nti omusajja ono okunoba awagirwa nnyina kuba nti ne nnyina yaakanoba ewa bba, n’awaganyaza ne mutabani we.
Collins Kafeero yagambye nti ku nneeyisa omukazi gy’ayolesezza, kyamagezi abafumbo bano okusooka okwawunakanamu okuziyiza okuyiwa omusaayi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});