Abatuuze basse omuserikale oluvannyuma lwa munnaabwe okukubwa amasasi n'afa!
May 19, 2025
ENSASAGGE egudde ku kyalo, abatuuze bwe bakakkanye ku muserikale wa poliisi ne bamukuba ne bamutta, oluvannyuma lw'omu ku munnaabwe okukubwa amasasi agamusse.

NewVision Reporter
@NewVision
ENSASAGGE egudde ku kyalo, abatuuze bwe bakakkanye ku muserikale wa poliisi ne bamukuba ne bamutta, oluvannyuma lw'omu ku munnaabwe okukubwa amasasi agamusse.
Abaserikale abalala babiri, bwe babadde n'omugenzi, nabo tebalabikako nga mu kiseera kino, poliisi eri mu kubanoonya okuzuula gye bali.
Enjega eno egudde ku kyalo Tecik mu disitulikiti ya Oyam , abaserikale basatu okuli PC John Bosco Naturinda, D/c Erick Ojok , D/c Robert Aguta okuva ku Ngai Police Station mu Oyam bwe bagenze ku kyalo ekyo okubaako gwe bakwata .
Kigambibwa nti nga batuuse, abatuuze beekumyemu omuliro ne babalemesa okukwata omuntu era nga kino kyabaviiriddeko okwerwanako.
Mu kufulumya amasasi, gaakutte omu ku batuuze n’afa, ekyayongedde okutaamuula abatuuze ne bataayizaako omu, PC John Bosco Naturinda abadde addukidde mu maka ga ssentebe wa LC1 ne bamukuba ne bamuttirawo.
Abalala ababiri, tebannamanyikako mayitire era nga mu kiseera kino, poliisi ng'ekulembeddwa DPC wa Oyam Job Mutegeki, bali mu kusamba nsiko okunoonya abaserikale abalala, okuzuula oba nga bakyali balamu okusinziira ku nsonda erudda eyo.
No Comment