Agambibwa okubeera n'ebyama bya banene ku Palamenti talabikako!

May 19, 2025

WAZZEEWO akasattiro ku palamenti oluvannyuma lw’akulira bambega okuyitibwa bakama be ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde n’ataddamu kulabikako n’okutuusa kati.

NewVision Reporter
@NewVision

WAZZEEWO akasattiro ku palamenti oluvannyuma lw’akulira bambega okuyitibwa bakama be ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde n’ataddamu kulabikako n’okutuusa kati.

ASP Charles Twine yagenze ku kitebe kya Poliisi nga yeevuga mu mmotoka ye ekika kya Mercedes Benz UAV 869P nga n’okutuusa kati ekyasimbye mu paakingi ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga n’essimu ze zaggyiddwaako amangu ddala n’okutuusa kati tezinnaddako.

Mmotoka Ya Twine Yasigadde Esimbye Ku Kitebe Kya Poliisi E Naguru.

Mmotoka Ya Twine Yasigadde Esimbye Ku Kitebe Kya Poliisi E Naguru.

Kino, kyawalirizza abaffamire okugenda ku poliisi y’e Kasangati ne baggulawo omusango gw’okubula (Disappearance) kwa Asp Twine Mansio Charles ku fayiro SD 85/14/05/2025.

Ensonda zaategeezezza nti ASP Charles Mansio Twine yatuuse ku kitebe kya poliisi e Naggulu okulaba omuduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba eyabadde amuyise, abaserikale abaabaddewo ng’ayingira gwe gwakomye okumulabako nga n’okutuusa kati abaffamire bamunoonya talabika.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituma Rusoke agamba tamanyi bikwata ku Twine wadde ng’ekitebe kya poliisi kyonna kikuumibwa butiribiri nga kuliko ne kkamera eziraba mu buli kasonda.

Ekisinga okweraliikiriza aba ffamire, y’engeri omuntu waabwe gye yabulidde mu kifo ekirina ebyokwerinda ebyenkanidde awo ne wabulawo ne kkamera eraga ekyabaddewo. 

AKASATTIRO KU PALAMENTI
Twine y’abadde akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya Palamenti era ensonda zaategeezezza nti alina abyama by’abanene bingi naddala ku nzirukanya y’emirimu n’ebimu ebiri wabweru wa Palamenti.

Ensonda zaategeezezza nti okubuzibwawo kwe, kwaleese akasattiro akamaanyi mu banene ku palamenti n’abamu bakira bakuba amasimu ku poliisi ez’enjawulo n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala nga bagezaako okufuna amawulire ku bizuuliddwa.

Okufuna omulimu ku Palamenti, Twine ye yali omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wabula bwe yalonda Maj. Tom Magambo, ekifo ky’omwogezi wa CID ne kigenda ne Grace Akullo, Magambo gwe yaddira mu bigere.

Charles Mansio Twine eyakwatiddwa.

Charles Mansio Twine eyakwatiddwa.

ABAFFAMIRE BASOBEDDWA
Dr. Vitus Akasemererwa muto wa Twine yagambye nti bwe yabadde tannabula, yasoose kugenda Mbarara n’ababaka ba Palamenti ku mirimu emitongole era essimu emuyita okusisinkana bakama be gye yamusanze.

Yannyonnyodde nti ku Lwokusatu ku makya, Twine yakedde ku kitebe kya poliisi e Naggulu wabula teyazzeemu kulabikako nga n’ababadde bamuyise bagamba tebamanyi gy’ali.

“Emmotoka ye twagisanzeewo ng’esimbye kumpi n’ekizimbe okuli ofiisi z’abakulu wabula nga ye bagamba tebamanyi gy’ali,” Akasemererwa bwe yagambye.

Ensonda mu ffamire zaategeezezza mukyala wa Twine yatuukiridde IGP Abbas Byakagaba ku Lwokusatu nti kyokka yamujulizza akulira abakozi mu poliisi, Maj. Gen. Jessy Kamunanwire.

“Twagenze mu ofiisi ya Gen. Kamunanwire nga taliimu okutuusa ku Lwokutaano lwe twamulabye n’atugamba naye tamanyi Twine gy’ali nti wabula tusobola okulondoola essimu ze ne bwe ziba teziriiko ne tumanya w’ali.” Dr. Akasemererwa bwe yagambye.

Agattako nti Gen. Kamunanwire yabawadde ennamba ky’essimu y’omuserikale okuva ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli n’abawa n’amagezi okunoonyaako ku ‘Railway grounds’ we basibira abaserikale abalina emisango oba e Kireka gye basibira abali ku misango egya naggomola.

Dr. Akasemererwa yagambye nti yonna batuuseeyo nga taliiyo n’e Kireka baserikale banne baagambye nti nabo bamunoonya abayambeko ku mirimu egimu egyetaaga obukugu bwe.

Ensonda e Naggulu zaategeezezza nti ku Lwokusatu, Twine lwe yayitibwa, mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi yasangayo omumyuka w’omuduumizi DIGP, James Ochaya, Maj. Gen. Kamunanwire n’oluvannyuma ne beegattibwako bamayinja basatu okuva mu ggye erikuuma Pulezidenti okwali eyali ku ddaala lya ‘Col’, Major ne Kapiteeni mu kafubo era ebyava mu kafubo kano bye byasalawo ekiddako eri Twine.

EBIKWASIZZA TWINE
Omwogezi w’eggye lya SFC, Maj. Jimmy Omara bwe yatuukiriddwa yagambye nti tebalina kye bamanyi ku nsonga za Twine n’ategeeza nti engeri gye yabulidde ku kitebe kya poliisi e Naggulu, poliisi y’erina okunnyonnyola ebyabaddewo.

Kyokka Kituma bwe twamutuukiridde yagambye nti tebalina kye baafunye ku bikwata ku Twine nga ne kkamera zaabwe zaabadde tezirina kye zaabalaze. Wabula ensonda zaategeezezza nti Twine akuumirwa mu nkambi y’amagye e Kasenyi nga kigambibwa nti yakwatiddwa okuyambako ku bitongole ebyokwerinda ku kubuuliriza okw’ekyama ku banene ku Palamenti.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});