Poliisi esabye Abalamazi batambule misana wokka!

May 19, 2025

Abalamazi aboolekera e Namugongo, poliisi ebasabye okutambula mu budde obwemisana bwokka.

NewVision Reporter
@NewVision

Abalamazi aboolekera e Namugongo, poliisi ebasabye okutambula mu budde obwemisana bwokka.

Mu ngeri y'emu era, balina okuwummulira mu bifo byokka omuli obukuumi bwa poliisi era nga babikkiriziganyako.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, asabye abantu bano, okutambulira mu bibinja ate era mu nnyiriri, okwewala obubenje.

Annyonnyodde mu buli kitundu, bataddewo abaserikale abajja bawerekera Abalamazi bano okutuukira ddala e Namugongo. Okulamaga kwa June 3,2025 mu biggwa by'abajulizi e Namugongo.

Abalamazi batambula okuva mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo, n'ebweru awamu ne mu mawanga agatwetoolodde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});