Baddereeva abakola obubenje ne badduka poliisi ebalabudde
May 19, 2025
Poliisi evuddeyo okulabula baddereeva naddala ababbaasi abakola obubenje ne babulawo nti baakuyiggibwa paka.

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi evuddeyo okulabula baddereeva naddala ababbaasi abakola obubenje ne babulawo nti baakuyiggibwa paka.
Poliisi egamba nti abamu ku baddereeva bano, bakola obubenje ne badduka, nti bwe wayitawo akaseera nga badda nga bagenda mu maaso n'okuvuga bbaasi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ssinga bakwata ddereeva azzizza omusango ng'ate azzeemu okuvuga, baakumuvunaana ne kkampuni gy'akolera nayo ekangavvulwe.
Awadde eky'okulabirako ekya baddereeva ba kkampuni ya YY coaches abagambibwa okukola obubenje ne babulawo era nga babanoonya.
Mu kusooka, Rusoke ategeezezza ng'abantu Abasatu abaasiririra mu kabenje ka bbaasi e Makindu Buikwe, bwe baakoleddwako DNA era abeng’anda zaabwe emirambo ne bagitwala.
No Comment