‘Abaami mwogere ebibasoomooza mu maka’

May 20, 2025

ABAAMI bakubiriziddwa okwogeranga ku bibasoomooza mu bulamu bwabwe n'okufuga obusungu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAAMI bakubiriziddwa okwogeranga ku bibasoomooza mu bulamu bwabwe n'okufuga obusungu.
Bino byayogeddwa Odrek Rwabwogo mu lukung’aana lw'enjiri lwa Light Up Uganda olubadde ku kisaawe e Kololo.
Olukung’aana luno lwategekeddwa Patience Museveni Rwabwogo, muwala wa Pulezidenti Museveni era lwakumala wiiki nnamba era ng’olunaku olusooka lwabadde ku kubangulabaami era nga batambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Kyusa
omwami kyusa ensi”. Odrek Rwabwogo nga ye mwami wa Patience era nga y’akulira
akakiiko akawabula omukulembeze w’eggwanga ku busuubuzi aka Presidential Advisory Committee on Exports and Industrial Development (PACEID) yakulembeddemu okusomesa abaami ku bintu ebisinga okubabuza otulo. Agambye nti abaami basisinkana ebibasoomooza bingi naye ne batya okubyogerako n’abantu abasobola okubayamba wabula ne beesiba mu bufunda ekintu oluusi ekibakosa. Asabye abaami obutakwatibwa nsonyi nga basirikira ku bibasoomooza kuba ne Bayibuli nayo byonna ebyogerako nga byaliyo era bya buntu wabula omusomo guno gubayambe okweddaabulula nga bakyusa mu nneeyisa yaabwe eyo etesanyusa Katonda.
Olukung’aana luno lwetabiddwaamu abakulembeze b'ekkanisa ez’enjawulo okwabaadde
omusumba Robert Kimuli, Joshua Lwere, Michael Kimuli, omulabirizi Kiganda n'abalala ng'omubuulizi omukulu agenda kuba Dokita Ladonna okuva mu America ng'atuuka Lwakusatu mu Uganda.
Olukung’aana lwakukomekkezebwa ku Lwomukaaga nga May 24 ng'omukulembeze w'eggwanga yasuubirwa okuluggalawo ne mukyala we Janet Museveni. Abategesi abalala kuliko; Archbishop Dr. Moses Odongo, Apostle Dr Joseph Sserwadda, Rt.
Rv. Moses Banja, Bishop Simon Peter Emiau, Prof. Simeon Kayiwa, Bp. Michael David Kyazze, Pastor Jackson Ssenyonga, Rt. Rev. Enos Kitto Kagodo, Rt. Rev Wilson Kisekka, Pastor Robert Kayanja, Rt. Rev. Gaster Nsereko, Bishop Dr. David L. Kiganda, Rt. Rev. Dr. James Bukomeko, Rt. Rev. Michael Lubowa, Rt. Rv. Jackson Fredrick Baalwa. Abagenda okubuulira kuliko; Bp. Dr Joshua Lwere, Apostle Dr Daniel Batambuze, Apostle Dr John Bunjo, Pastor Laban Jjumba, Bishop Deo Musoke, Bishop Michael Kimuli, Bishop W. Mulinde, Rt. Reverend Nathan Ahimbisibwe n’abalala bangi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});