Kkooti e Nakawa egaanyi enkyukakyuka mu misango gya Kiiza Besigye
May 22, 2025
KKOOTI y’e Nakawa egaanyi okukkiriza ennongoosereza ezaakoleddwa mu musango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa Rtd. Dr. Kiiza Besigye ne banne 2, omulamuzi ali mu musango guno tabaddeewo, bannamateeka be ne beemlugunya ku bbanga eddene lye bamaze ku limanda.

NewVision Reporter
@NewVision
KKOOTI y’e Nakawa egaanyi okukkiriza ennongoosereza ezaakoleddwa mu musango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa Rtd. Dr. Kiiza Besigye ne banne 2, omulamuzi ali mu musango guno tabaddeewo, bannamateeka be ne beemlugunya ku bbanga eddene lye bamaze ku limanda.
Besigye ne banne bwe bali ku musango guno okuli; Hajji Obeid Lutale ne Capt. Dennis Oola baabadde bakomezeddwaawo ku kkooti e Nakawa okumanya oludda oluwaabi we lutuuse mu kunoonyereza ku musango guno.
Kyokka olusomye fayiro y’omusango guno, omuwaab wa Gavumenti, Richard Birivumbuka n’ategeeza nga bwe baakoze enkyukakyuka mu mpaaba y’omusango guno kyokka omulamuzi Jonathan Tiyo abadde mu kkooti agaanyi okukkiriza enkyukakyuka zino okwanjibwa.
Tiyo yagambye Birivumbuka nga bw’atasobola kukkiriza kukola nnongoosereza zino kubanga si y’ali mu mitambo gy’omusango guno, guli wa mulamuzi mulalan nga yaweereddwa biragiro kwongerayo bwongezi musango guno. Omulamuzi Tiyo alagidde abasibe bakomezebwewo mu kkooti nga May 29, 2025 n’alagira abaamakomera
okukkirizaako abantu bataano ab’oluganda lw’abasibe bano babalabeko era kino ekitongole ky’ekkomera bakikoze. Wabula nga kkooti ewedde
waliwo abantu abatamanyiddwa abakwatiddwa wabeeru wa kkooti
era ne bateekebwa mu mmotoka za Drone ne batwalibwa awatategeerekeddwa wakati mu kuwoggana.
No Comment