Bw’okola ssente mu manda ga buliketi

May 24, 2025

AMANDA agamanyiddwa nga aga ‘bbuliketi’ ge gamu ku gettanirwa ennaku zino olw’okuba nga tegaggweerera mangu ate nga tegagulwa ssente nnyingi.

NewVision Reporter
@NewVision

AMANDA agamanyiddwa nga aga ‘bbuliketi’ ge gamu ku gettanirwa ennaku zino olw’okuba nga tegaggweerera mangu ate nga tegagulwa ssente nnyingi.

Keefa Kalanzi, omutuuze ku kyalo Kyabbogo ekisangibwa mu ggombolola y’e Kingo mu disitulikiti y’e Lwengo y’omu ku bakola amanda ekika kino era alaze ebirungi ebiri ku mmanda gano aga bbuliketi ate ne bye weetaaga okugakola.

Engeri amanda ga buliketi gye gakozesebwa.

Engeri amanda ga buliketi gye gakozesebwa.

Kalanzi agamba nti: Ng’oggyeeko okuba ng’amanda gano gavaamu ssente ezeegasa ng’ogakoze, eky’enkizo ekirala kye galina kwe kutaasa obutonde bw’ensi kubanga gakolebwa mu kasasiro oluusi ne mu lusennyente bwe lubeerawo.

Bw’oba onookola amanda gano, weetaaga okugula akuuma akeeyambisibwa mu kugakola ng’akasookerwako kali wakati wa 1,500,000/- ne 2,000,000/-. Okwogattako okuzimba ekifo w’ogenda okugaanika ate n’ekiveera ekigabikka.

Bino nabyo bisobola okuggweera mu 1,500,000/- oba 2,000,000/-.. Bw’oba okola bbuliketi, weetaaga olusennyente, olwo olugula okusinziira ku bungi bw’oyagala.

Bw’oba tokozesezza lusennyente, oba olina okufuna kasasiro n’omwokya mu ngeri ey’ekikugu era n’ofunamu ebyefaanaanyiriza olusennyente mw’ogatta ebbumba okusobola okukola bbuliketi.

Obudde bwe buba bulungi, mu nnaku nga ssatu oba nnya, amanda gano gaba gakaze olwo ng’ogenda ku Katale.

Amanda ekika kino gettanirwa abaaluza obukoko okugakozesa mu bbuluuda n’okufumbirako ebintu ebirwawo okuggya gamba ng’ebijanjaalo.

Kkiro y’amanda amatono ag’ekika kino egula 1000/-, ate amanene, erimu ligula 2000/-, ate bw’ogula asatu (3) osobola okugafunira ku 5000/-, wabula nga gafumba ebintu bingi ddala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});