Akalulu ka 2026: BannaNRM baggyeeyo empapula ne bawera
Jun 03, 2025
Bannakibiina kya NRM batandise okukimayo empapula ez'ebifo bye beegwanyiza.
By Shamim Saad
Journalist @New Vision
Bannakibiina kya NRM batandise okukimayo empapula ez'ebifo bye beegwanyiza.
Mu bano mulimu Hajati Nambi Farida ng'ono yaggyeeyo empapula eggulo ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North .
Mu balala mulimu eyali minisita Amelia Kyambade naye eyaggyeeyo empapula n'awera okuddamu okukiikirira Mawokota n'alaga ne by'atandikirako.
Hajji Kemigisha Kasimu ng'ono yeegwanyiza kifo kya mubaka akiikirira Kabale naye yaggyeeyo empapula, gattako Saulo Kamaali Ssekindi eyeegwanyiza okukiikirira ab'e Lwengo mu Palamenti.
Mu balala abaggyeeyo empapula mulimu Innocent Tushabe ng'ono ayagala kifo kya mubaka w'e Rukungiri
Related Articles
No Comment