Abakubiddwa bbomu e Munyonyo babadde batujju - Magye
Jun 03, 2025
Abagambibwa okuba abatujju babiri, bakubiddwa bbomu n'ebattirawo e Munyonyo mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala
By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision
Abagambibwa okuba abatujju babiri, bakubiddwa bbomu n'ebattirawo e Munyonyo mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala.
Abantu bano abagambibwa okuba omukazi n'omusajja nga babadde batambulira ku pikipiki nga beesibye bbomu , ebakubye n'ebatta nga banaatera okutuuka ku Eklezia ya Basirika e Munyonyo.
Ekifaananyi ekisaasaanidde omutimbagano ku bantu 2 abakubiddwa bbomu e Munyonyo.
Kabadde kaseera kazibu wakati mu kusattira kw'abamu ku babadde bagenze okusaba nga kuno kw'ogasse n'abatuuze mu kitundu, oluvannyuma lw'okubwatuka kwa bbomu eyo okubadde okw’amaanyi.
Akola nga omwogezi w'amagye Col Chris Magezi, ategeezezza nti aba UPDF abalwanyisa ebikolwa eby'ekitujju { Counter Terrorism } nti babadde babalondoola era n'asaba abantu okwongera okubeera obulindaala n'okuloopa kye bateekakasa mu bwangu.
No Comment