Speaker erinnye eggere mu nteekateeka z'okuwaayo ettaka okuzimba kkooti
Jun 16, 2025
SIPIIKA w'olukiiko lwa disitulikiti ya Luweero Derick Lukanga Kibirango alinnye eggere mu mukolo gw'olukwasa ab'ekitongole ekiramuzi ettaka okuzimba kkooti enkulu ng'agamba olukiikolwe terwayisizza nsonga eno era tebagimanyiiko.
By Kanyike Samuel
Journalist @New Vision
SIPIIKA w'olukiiko lwa disitulikiti ya Luweero Derick Lukanga Kibirango alinnye eggere mu mukolo gw'olukwasa ab'ekitongole ekiramuzi ettaka okuzimba kkooti enkulu ng'agamba olukiikolwe terwayisizza nsonga eno era tebagimanyiiko.
Ettaka erya yiika bbiri lisangibwa ku kyalo Piida e Kasana mu kibuga Luweero nga kigambibwa disitulikiti yaligula n'eritonera minisitule y'ebyamateeka n'ekitomgole ekiramuzi okuzimba kkooti enkulu era nga omukolo gwabadde gutegekeddwa okubaawo ku lw'okutaano.
Wabula sipiika olwafunye kkoopi y'ebbaluwa emuyita ku mukolo n'akuba enkanda wansi nga yebuuza ddi lwe baayisa ekiteeso ekigaba ettaka lino ate ng'ekitongole ekiramuzi kisobola okulyegulira n'akwata ekkalaamu n'awandiika ebbaluwa eyimiriza omukolo bamale okunoonyereza.
'CAO ne DEC baafuna ddi obuyinza obukola ekyapa ne bagaba ettaka lya disitulikiti nga kkanso yange temanyi. Kirabika balina kye baagala okuyisaawo batusuule mu buzibu', sipiika Lukanga bwe yagambye.
Yawadde akulira abakozi wiki bbiri ayite kkanso aginnyonnyole kunsonga eno n'agamba bwe banazuula nga baakikola mu mankwetu amateeka ga kulamula.
Amyuka akulira abakozi mu disitulikiti ya Luweero yategeezezza nti yaakajja mu Luweero n'agamba agenda kwekennenya ensonga eno.
Related Articles
No Comment