Bajeti ya Buganda esomwa leero
Jun 16, 2025
OMUWANIKA wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa ali mu kusoma embalirira y'ebyensimbi
By Dickson Kalumba
Journalist @New Vision
OMUWANIKA wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa ali mu kusoma embalirira y'ebyensimbi
Omukolo guno guli mu lutuula lwa Lukiiko lwa Buganda olukubirizibwa Patrick Mugumbule e Bulange-Mmengo.
Lwetabiddwamu Ababaka ba Palamenti abakikkirira ebitundu bya Buganda nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Ssentebe w'akabondo k'ababaka abava mu Buganda,Dr. Lulume Bayigga.
Mu kiseera kino, Waggwa nga mu kiseera ky'ekimu ye Mumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda,akyaawa ensasanya n'ebyakolebwa mu mbalirira y'Omwaka oguwedde eyali ey'obuwumbi 257.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasoose okwogerako eri Abakiise n'abategeeza nti Kabaka Mutebi II gyeyagenda e Bulaaya okulaba abasawo be, bitambula bulungi.
No Comment