Bannakibiina kya NUP basaze eddiiro ne beegatta ku NRM, Kibuule abaanirizza ne beeyabya
Jun 17, 2025
Banna NUP basaze eddiiro ne beegatta ku NRM, Kibuule abaanirizza ne beeyabya
By Henry Nsubuga
Journalist @New Vision
Banna NUP basaze eddiiro ne beegatta ku NRM, Kibuule abaanirizza ne beeyabya
Abavubuka abasoba mu 20 okuva mu kibiina kya NUP e Mukono basaze eddiiro ne beegatta ku kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM. Bano baaniriziddwa eyali omubaka wa palamenti era eyali minisita omubeezi ow’amazzi, Ronald Kibuule mu lukungaana olukubiddwa e Kabembe ku kisaawe mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.
Tomasi Nyambwa, omu ku baasaze eddiiro ng'ayogera, ku ddyo, Kibuule ng'amutunuulidde
Bano kuliko; Augustine Kamira, Muhammad Kyazze, Eric Watero, Lawrence Ssali, James Kiberu, Fred Mutyaba, Abbas Kyambadde, Ashraf Ssekanjakko, Geoffrey Mulumba, Tomasi Nyambwa, Abdul Kharim Mukose, Ramathan Kalulu, Godfrey Mayengo, Aisha Najjemba, Brian Ssekajugo n’abalala.
Bagamba nti bangi ku bbo, baali bamu ku banna NUP era abaali abawagizi b’omubaka wa palamenti owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni abawambibwa ne batulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo mu kkampeyini za 2021.
Augustine Kamira akakasizza nti ddala ye yawambibwa ne banne ne bakuumirwa mu buwambwe ng’amaaso masibe n’emikono okumala emyezi ebiri okutuusa ng’okulonda kuwedde ne balyoka babata.
Wabula awakanyizza ebizze bibungeesebwa oludda lwa Mulimamayuuni nga bagamba nti Kibuule yeeyali emabega w’okuwambibwa kwabwe ng’agamba nti si bituufu kuba bbo baabawamba lwa kwenyigira mu kwekalakaasa okwaliwo nga November 18, 2020 omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu era eyali avuganya ku bwa pulezidenti bwe yakwatibwa ab’eby’okwerinda ng’ali e Luuka mu kunoonya obuwagizi.
Kamira yawadde Mulimamayuuni amagezi ave mu by’okwewasa okuwambibwa kw’abantu, ng’alina kubabuulira biki by’abakoledde mu bbanga ery’emyaka egikunukkiriza mw’etaano gy’amaze ng’omubaka waabwe owa palamenti.
Abawagizi ba Kibuule nga bamwaniriza ng'atuuka ku kisaawe e Kabembe
Ate Brian Ssekajugo nga mutuuze w’e Buntaba mu Kyampisi yagambye nti ate bbo tebaawambibwa nga bwe byogerwa wabula nga Mulimamayuuni yennyini ye yabakungaanya n’abatwala ku ffakitole ya taatawe e Bweyogerere ekola plastic n’abakuumira eyo okumala emyezi ebiri nga n’okulonda we kwabeererawo tebaaliwo.
Wabula bw’atuukiriddwa ku lukomo lw’essimu, omubaka Mulimamayuuni ayanukudde eby’ogerwa n’agamba nti abantu bonna abaawambibwa baaloopa ku poliisi emisango gyegiri ng’abo abagamba nti baawamibwa tebalina we balagibwa nga n’olwekyo si batuufu nga bakozesebwa lwa nsimbi ezaabapokeddwa Kibuule ali mu kugula obuganzi.
Yagambye nti Kibuule bw’aba ayagala okuddamu okufuna obuganzi mu bantu, bino by’atandise tebirina kye bigenda kumuyamba ng’alina kukola kimu kwe kulaba ng’abantu ababiri ku baawambibwa kati emyaka etaano nga tebalabika abakomyewo mu b’enganda zaabwe emitima gibakke ng’ekitalo ekyo, by’alimu ali mu kutengejjera busa. Abaawambibwa nga ne gye buli eno tebalabikanga kuliko; Yuda Ssempijja ow’e Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi ne Muhammad Kanatta ow’e Walusubi mu ggombolola y’e Nama.
Ng’ayogerako eri abantu mu lukungaana lwe e Kabembe ku Ssande, Kibuule yabannyonnyodde ensonga n’abagamba nti we yabeerera omubaka alina bingi bye yakola omuli okubunyisa amazzi n’amasannayalaze mu byalo naye nga bukyanga avaawo byakoma awo.
Yagambye nti ayagala baddemu bamulonde asobole okuyamba ku kitundu kino okukula ng’aleeta bamusiga nsimbi bazimbeyo amakolero aganaabawa emirimu nga bwe yakola e Mbalala
No Comment